Add parallel Print Page Options

(A)Obadde mukambwe nnyo eri abantu bo;
    tuli nga b’owadde omwenge omungi ne gututagaza.

Read full chapter

(A)Mukama akutte mu mukono gwe ekikompe eky’obusungu bwe
    ekijjudde omwenge ogutabuddwamu ebirungo era kijjudde ejjovu;
akifuka, aboonoonyi bonna ku nsi
    ne bakinywa ne bakimaliramu ddala.

Read full chapter

Ekikopo ky’Obusungu bwa Mukama

17 (A)Zuukuka, zuukuka, oyimirire ggwe Yerusaalemi
    eyanywa okuva eri Mukama ekikompe eky’obusungu bwe,
eyanywa n’omaliramu ddala
    ekibya ekitagaza.

Read full chapter

(A)Mu busungu bwange nalinnyirira abantu,
    mu kiruyi kyange ne mbatamiiza,
    omusaayi gwabwe ne nguyiwa ku ttaka.”

Read full chapter

57 (A)Nditamiiza abakungu be n’abasajja be abajjudde amagezi,
    ne bagavana, ab’ebitongole awamu n’abalwanyi;
balyebaka emirembe gyonna era tebalizuukuka,”
    bw’ayogera Kabaka ayitibwa Mukama Katonda ow’Eggye.

Read full chapter