Isaaya 52:1
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Katonda Alizzaawo Yerusaalemi
52 (A)Zuukuka, zuukuka,
oyambale amaanyi go, ggwe Sayuuni.
Ggwe Yerusaalemi ekibuga ekitukuvu,
teekako ebyambalo byo ebitemagana.
Kubanga okuva leero mu miryango gyo
temukyayingira mu atali mukomole n’atali mulongoofu.
Yobu 21:20
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
20 (A)Leka amaaso ge ye yennyini galabe okuzikirira;
leka anywe ku kiruyi kya Ayinzabyonna.
Okubikkulirwa 14:10
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
10 (A)oyo alinywa ku nvinnyo y’obusungu bwa Katonda, nga muka mu kikompe eky’obusungu bwe. Era alibonyaabonyezebwa n’omuliro ne salufa ebyaka mu maaso ga bamalayika abatukuvu ne mu maaso g’Omwana gw’Endiga.
Read full chapter
Okubikkulirwa 16:19
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
19 (A)Ekibuga Babulooni ekikulu ne kyeyubuluzaamu ebitundu bisatu, n’ebibuga by’amawanga ne bigwa. Awo Babulooni ekikulu ne kijjukirwa mu maaso ga Katonda, era ne kiweebwa ekikompe ky’envinnyo eky’obukambwe bw’ekiruyi kya Katonda.
Read full chapter
Zabbuli 60:3
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
3 (A)Obadde mukambwe nnyo eri abantu bo;
tuli nga b’owadde omwenge omungi ne gututagaza.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.