Add parallel Print Page Options

(A)Bakatonda baabwe bakole mu ffeeza ne zaabu,
    ebikolebwa n’emikono gy’abantu.
(B)Birina emimwa, naye tebyogera;
    birina amaaso, naye tebiraba.

Read full chapter

(A)Bakatonda bafaanana nga ssemufu
    mu nnimiro y’ebibala,
era tebasobola kwogera
    kubanga basitulwa busitulwa tebasobola kutambula.
Tobatya,
    tebayinza kukukola kabi konna,
    wadde okukola akalungi n’akamu.”

Read full chapter

(A)Kale ku nsonga eno ey’okulya ebiweereddwayo eri bakatonda abalala, tumanyi bakatonda abalala bwe bataliimu nsa. Era tumanyi nga waliwo Katonda omu yekka, tewali mulala.

Read full chapter

(A)Mumanyi nti bwe mwali Abaamawanga mwabuzibwabuzibwanga ne mutwalibwa eri ebifaananyi ebitayogera.

Read full chapter