1 Abakkolinso 12:2
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
2 (A)Mumanyi nti bwe mwali Abaamawanga mwabuzibwabuzibwanga ne mutwalibwa eri ebifaananyi ebitayogera.
Read full chapter
Zabbuli 115:5
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
5 (A)Birina emimwa, naye tebyogera;
birina amaaso, naye tebiraba.
Zabbuli 115:7
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
7 Birina engalo, naye tebikwata;
birina ebigere, naye tebitambula;
ne mu bulago bwabyo temuvaamu ddoboozi n’akamu,
Isaaya 41:24
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
24 (A)Laba, temuliiko bwe muli
ne bye mukola tebigasa.
Abo ababasinza bennyamiza.
Isaaya 46:7
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
7 (A)Katonda waabwe ne bamusitulira ku kibegabega, ne bamuwa ekifo w’anaayimiriranga.
N’ayimirira awo,
n’atava mu kifo kye.
Oli ne bw’amukaabirira tayinza kumuddamu,
tayinza kumuwonya mu mitawaana gye.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.