Add parallel Print Page Options

17 (A)Bakabona abaweereza ba Mukama
    bayimirire wakati w’ekisasi kya yeekaalu n’ekyoto,
bakaabirire Mukama nga bamusaba nti, “Saasira abantu bo, Ayi Mukama;
    abantu b’obusika bwo tobaleka kugwa mu mikono gya bannamawanga okubafuga
    era n’okubasekerera.
Bannamawanga baleme kuduula nga boogera nti,
    ‘Katonda waabwe ali ludda wa?’ ”

Read full chapter

19 (A)Era weekuumenga nnyo bw’onooyimusanga amaaso go okutunula waggulu ku ggulu, n’olaba enjuba, n’omwezi n’emmunyeenye, n’ebitiibwa byabyo, n’osendebwasendebwa n’obiweereza, era n’obivuunamira n’obisinza; songa ebyo byonna bye bintu Mukama Katonda wo bye yawa amawanga gonna agali wansi w’eggulu.

Read full chapter

(A)era ng’ajeemedde ekiragiro kyange n’asinza bakatonda abalala, ng’enjuba, oba omwezi, oba emmunyeenye ez’oku ggulu, bye siragiranga okubisinzanga,

Read full chapter

28 (A)era n’ekyo kyandibadde kibi ekiŋŋwanyiza okusalirwa omusango
    olw’obutaba mwesigwa eri Katonda ali waggulu.”

Read full chapter

27 (A)nga bagamba emiti nti, “Ggwe kitange,”
    era n’ejjinja nti, “Ggwe wanzaala.”
Bankubye amabega,
    naye bwe balaba ennaku bankaabirira nti, “Yimuka ojje otulokole.”

Read full chapter

Abakulembeze ba Isirayiri Basalirwa Omusango

11 (A)Awo Omwoyo n’ansitula n’antwala ku luggi olw’ebuvanjuba olw’ennyumba ya Mukama. Ku mulyango awo waaliwo abasajja amakumi abiri mu bataano wakati mu bo nga mwe muli Yaazaniya mutabani wa Azuli ne Peratiya mutabani wa Benaya, abakulembeze b’abantu.

Read full chapter

12 (A)Mulitegeera nga nze Mukama, kubanga temugoberedde biragiro byange newaakubadde amateeka gange, naye mukoze ng’amawanga amalala agabeetoolodde bwe gakola.”

Read full chapter