Add parallel Print Page Options

16 (A)Awo n’antwala mu luggya olw’omunda olw’ennyumba ya Mukama, awo ku mulyango gwa yeekaalu ya Mukama wakati w’ekisasi n’ekyoto, nga waliwo abasajja ng’amakumi abiri mu bataano, nga bakubye amabega eyeekaalu ya Mukama, nga batunudde Ebuvanjuba, ne bagwa bugazi nga basinza enjuba nga batunudde Ebuvanjuba.

Read full chapter

35 (A)Bwe mutyo omusango gw’okutemula abatuukirivu, okutandikira ku Aberi omutuukirivu okutuuka ku Zaakaliya, mutabani wa Balakiya gwe mwattira wakati wa yeekaalu n’ekyoto, ne gubasingira ddala.

Read full chapter

26 (A)Ne nsaba Mukama nti, Ayi Mukama Katonda, bano be bantu bo, era obusika bwo bwennyini, be wanunula n’obaggya mu nsi ey’e Misiri n’omukono gwo ogw’amaanyi. 27 Nkusaba ojjukire abaddu bo, era abaweereza bo, Ibulayimu, ne Isaaka, ne Yakobo osonyiwe obukakanyavu bw’eggwanga lino, n’obunafu bwalyo n’ebibi byalyo. 28 (B)Ab’omu nsi mwe watuggya baleme okugamba nti, “Olwokubanga Mukama yali tasobola kubatuusa mu nsi gye yabasuubiza, era olwokubanga yali abakyaye nnyo, kyeyava abaggyayo mu Misiri alyoke abattire mu ddungu.” 29 (C)Kubanga lino lye ggwanga lyo, be bantu bo ab’obusika bwo, be waggya mu Misiri n’obuyinza bwo obungi, n’omukono gwo ogw’amaanyi.

Read full chapter

13 (A)Watufuula ekivume eri baliraanwa baffe,
    ekinyoomebwa era ekisekererwa abo abatwetoolodde.

Read full chapter

(A)Nkaabirira Mukama
    emisana n’ekiro.
Amaziga gange gabadde emmere yange emisana n’ekiro,
    abantu ne baŋŋamba nti, “Katonda wo ali ludda wa?”

Read full chapter