Yoweeri 1:15
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
15 (A)Zitusanze olw’olunaku luli!
Kubanga olunaku lwa Mukama olw’entiisa lusembedde.
Lulijja, ng’okuzikiriza
okuva eri Ayinzabyonna.
Yoweeri 2:2
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
2 (A)Luliba olunaku olutaliiko ssanyu, olw’ekizikiza;
olunaku olw’ebire ebingi n’ekizikiza ekikutte.
Eggye ery’enzige ery’amaanyi ennyo,
ng’ery’abantu abalwanyi ab’ekitalo, libuutikidde ensozi.
Tewabangawo ggye lirifaanana mu biro byonna eby’edda,
era teribaayo liryenkana mu mirembe gyonna egiriddawo.
Isaaya 5:19
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
19 (A)Aboogera nti, “Ayanguyeeko, ayite mu bwangu tulabe ky’anaakola.
Entegeka z’omutukuvu wa Isirayiri nazo zijje,
zituuke nazo tuzimanye.”
Isaaya 5:30
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
30 (A)Era ku lunaku olwo baliwuumira ku munyago gwabwe
ng’ennyanja eyira.
Omuntu yenna bw’alitunuulira ensi,
aliraba ekizikiza n’ennaku;
n’ekitangaala kiribuutikirwa ebire ebikutte.
Yeremiya 30:7
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
7 (A)Nga luliba lwa nnaku olunaku olwo!
Tewali lulirufaanana.
Kiriba kiseera kya kabi eri Yakobo,
naye aliwona n’akiyitamu.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.