Add parallel Print Page Options

Ebibuga by’Abaleevi

21 (A)Awo abakulira ennyumba mu kika ky’Abaleevi ne bajja eri Eriyazaali kabona n’eri Yoswa mutabani wa Nuuni n’eri abakulu b’ennyumba z’abaana ba Isirayiri (B)e Siiro mu Kanani ne babagamba nti, “Mukama Katonda yalagira okuyita mu Musa nti tuweebwe ebibuga eby’okubeeramu era n’amalundiro g’ebisibo byaffe.”

Kale, nga Mukama bwe yalagira, Abayisirayiri ne bawa Abaleevi ebibuga bino n’amalundiro nga gwe mugabo gwabwe.

(C)Akalulu ne kagwa ku nda ez’Abakokasi. Bwe batyo Abaleevi abaali bava mu Alooni kabona ne bafuna ebibuga kkumi na bisatu okuva mu bika bya Yuda, ne Simyoni ne Benyamini.

(D)Abakokasi abaali basigaddewo ne bafuna ebibuga kkumi okuva mu nnyumba, z’ebika bya Efulayimu, ne Ddaani n’ekitundu ky’ekika kya Manase.

(E)N’abaana ba Gerusoni ne baweebwa ebibuga kkumi na bisatu okuva mu nnyumba zino: eya Isakaali, n’eya Aseri, n’eya Nafutaali, n’ekitundu ky’ekika kya Manase mu Basani.

(F)Abaana ba Merali ne baweebwa ng’ennyumba zaabwe bwe zaali, ebibuga kkumi na bibiri nga biva mu bika bino: Lewubeeni, ne Gaadi, ne Zebbulooni.

Abaana ba Isirayiri ne bawa Abaleevi ebibuga bino, n’amalundiro gaabwe nga Mukama bwe yali alagidde okuyita mu Musa.

Mu bika bya Yuda ne Simyoni mwavaamu ebibuga bino: 10 bye byaweebwa abaana ba Alooni mu nnyumba z’Abakokasi mu kika ky’Abaleevi kubanga akalulu be kasooka okugwako.

11 (G)Ne babawa Kiriasualuba (Aluba ye yali kitaawe wa Anaki) era ekimanyiddwa nga Kebbulooni mu nsi ey’ensozi eya Yuda n’ebyalo byakyo ebikyetoolodde. 12 Naye ennimiro zaakyo n’ebibuga byakyo ne babiwa Kalebu omwana wa Yefune abitwale ng’omugabo gwe. 13 (H)Abantu abaava mu Alooni eyali kabona ne baweebwa Kebbulooni, ebibuga ebyokwekwekamu abo ababa basse bantu bannaabwe, n’amalundiro gaabyo ne Libuna n’amalundiro gaakyo, 14 (I)ne Yattiri n’amalundiro gaakyo ne Esutemoa n’amalundiro gaakyo, 15 (J)ne Kaloni n’amalundiro gaakyo ne Debiri n’amalundiro gaakyo, 16 (K)ne Ayini n’amalundiro gaakyo ne Yuta n’amalundiro gaakyo ebibuga mwenda mu bika ebibiri.

17 (L)Ne mu kika kya Benyamini ne baweebwa Gibyoni, ne Geba 18 ne Anasosi n’amalundiro gaakyo, ne Alumoni n’amalundiro gaakyo ne Alumoni n’amalundiro gaakyo bye bibuga bina.

19 Ebibuga byonna eby’abaana ba Alooni bakabona byali ebibuga kkumi na bisatu n’amalundiro gaabyo.

20 Eri Abakokasi[a] abalala abaali bava mu nnyumba z’Abakokasi ez’Abaleevi ebibuga ebyabaweebwa byava mu kika kya Efulayimu.

21 (M)N’aweebwa Sekemu n’amalundiro gaakyo mu nsi ey’ensozi eya Efulayimu ekibuga eky’okwekwekamu oyo asse, ne Gezeri n’amalundiro gaakyo, 22 (N)ne Kizuzaimu n’amalundiro gaakyo ne Besukolooni n’amalundiro gaakyo,

23 ne mu kika kya Ddaani, Eruteke n’amalundiro gaakyo, Gibbesoni n’amalundiro gaakyo, 24 (O)Ayalooni n’amalundiro gaakyo, ne Gasulimmoni n’amalundiro gaakyo, bye bibuga bina.

25 Ne mu kitundu eky’ekika kya Manase, Taanaki, n’amalundiro gaakyo, ne Gasulimmoni n’amalundiro gaakyo, bye bibuga bibiri.

26 Ebibuga byonna eby’ennyumba z’abaana ba Kokasi abalala byali kkumi n’amalundiro gaabyo.

27 (P)N’eri abaana ba Gerusoni ekimu ku kika ky’Abaleevi,

ekitundu eky’ekika kya Manase, Golani mu Basani n’amalundiro gaakyo, ekibuga eky’okwekwekangamu oyo asse nga tagenderedde, ne Beesutera n’amalundiro gaakyo, ebibuga bibiri.

28 (Q)Ne mu kika kya Isakaali,

Kisioni n’amalundiro gaakyo, Daberasi n’amalundiro gaakyo, 29 Yalamusi n’amalundiro gaakyo, ne Engannimu n’amalundiro gaakyo, bye bibuga bina,

30 (R)ne mu kika kya Aseri,

Misali n’amalundiro gaakyo, Abudoni n’amalundiro gaakyo, 31 Kerukasi n’amalundiro gaakyo, ne Lekobu n’amalundiro gaakyo, bye bibuga bina.

32 (S)Ne mu kika kya Nafutaali,

Kadesi mu Ggaliraaya n’amalundiro gaakyo, ebibuga ebyokwekwekamu, ne Kammasudoli n’amalundiro gaakyo, ne Kalutani n’amalundiro gaakyo, bye bibuga bisatu.

33 (T)Ebibuga byonna eby’Abagerusoni ng’ennyumba zaabwe bwe zaali, byali ebibuga kkumi na bisatu n’amalundiro gaabyo.

34 (U)Abaleevi abaali basigaddewo abaana ba Merali ne baweebwa

okuva mu kika kya Zebbulooni,

Yokuneamu n’amalundiro gaakyo, ne Kaluta n’amalundiro gaakyo, 35 Dimuna n’amalundiro gaakyo, Nakalali n’amalundiro gaakyo, bye bibuga bina.

36 (V)Ne mu kika kya Lewubeeni,

Bezeri n’amalundiro gaakyo, ne Yakazi n’amalundiro gaakyo, 37 Kedemosi n’amalundiro gaakyo, ne Mefaasi n’amalundiro gaakyo bye bibuga bina.

38 (W)Ne mu kika kya Gaadi,

Lamosi mu Gireyaali n’amalundiro gaakyo, ekibuga ekyokwekwekamu oyo asse, ne Makanayimu n’amalundiro gaakyo. 39 Kesuboni n’amalundiro gaakyo, Yazeri n’amalundiro gaakyo awamu bye bibuga bina.

40 Ebyo byonna byali by’abaana ba Merali be Baleevi, abaali basigalidde ng’ennyumba zaabwe bwe zaali, bye bibuga kkumi na bibiri byonna awamu.

41 (X)Ebibuga byonna ebyali ku ttaka ery’abaana ba Isirayiri byali amakumi ana mu munaana awamu n’ebyalo byabyo ebibiriraanye. 42 Buli kimu ku bibuga bino kyalina ebyalo ebikyetoolodde; byonna ebibuga bwe byali.

43 (Y)Bw’atyo Mukama n’awa Isirayiri ettaka lyonna nga bwe yalayirira bajjajjaabwe, era bwe baamala okulifuna ne babeera omwo. 44 (Z)Mukama n’abawa emirembe ne bawummula ku buli luuyi nga bwe yalayirira bajjajjaabwe, tewali mulabe waabwe n’omu gwe bataawangula kubanga Mukama yali agabudde abalabe baabwe mu mukono gwabwe. 45 (AA)Buli kintu kyonna ekirungi Mukama kye yasuubiza ennyumba ya Isirayiri yakituukiriza. Byonna byatuukirira.

Footnotes

  1. 21:20 Abakokasi Tebaali bakabona kubanga tebaali bazzukulu ba Alooni.

Towns for the Levites(A)

21 Now the family heads of the Levites approached Eleazar the priest, Joshua son of Nun, and the heads of the other tribal families of Israel(B) at Shiloh(C) in Canaan and said to them, “The Lord commanded through Moses that you give us towns(D) to live in, with pasturelands for our livestock.”(E) So, as the Lord had commanded, the Israelites gave the Levites the following towns and pasturelands out of their own inheritance:

The first lot came out for the Kohathites,(F) according to their clans. The Levites who were descendants of Aaron the priest were allotted thirteen towns from the tribes of Judah, Simeon and Benjamin.(G) The rest of Kohath’s descendants were allotted ten towns from the clans of the tribes of Ephraim, Dan and half of Manasseh.(H)

The descendants of Gershon(I) were allotted thirteen towns from the clans of the tribes of Issachar,(J) Asher,(K) Naphtali and the half-tribe of Manasseh in Bashan.

The descendants of Merari,(L) according to their clans, received twelve(M) towns from the tribes of Reuben, Gad and Zebulun.(N)

So the Israelites allotted to the Levites these towns and their pasturelands, as the Lord had commanded through Moses.

From the tribes of Judah and Simeon they allotted the following towns by name 10 (these towns were assigned to the descendants of Aaron who were from the Kohathite clans of the Levites, because the first lot fell to them):

11 They gave them Kiriath Arba(O) (that is, Hebron(P)), with its surrounding pastureland, in the hill country of Judah. (Arba was the forefather of Anak.) 12 But the fields and villages around the city they had given to Caleb son of Jephunneh as his possession.(Q)

13 So to the descendants of Aaron the priest they gave Hebron (a city of refuge(R) for one accused of murder), Libnah,(S) 14 Jattir,(T) Eshtemoa,(U) 15 Holon,(V) Debir,(W) 16 Ain,(X) Juttah(Y) and Beth Shemesh,(Z) together with their pasturelands—nine towns from these two tribes.

17 And from the tribe of Benjamin they gave them Gibeon,(AA) Geba,(AB) 18 Anathoth(AC) and Almon, together with their pasturelands—four towns.

19 The total number of towns(AD) for the priests, the descendants of Aaron, came to thirteen, together with their pasturelands.(AE)

20 The rest of the Kohathite clans of the Levites were allotted towns from the tribe of Ephraim:

21 In the hill country of Ephraim they were given Shechem(AF) (a city of refuge for one accused of murder) and Gezer,(AG) 22 Kibzaim and Beth Horon,(AH) together with their pasturelands—four towns.(AI)

23 Also from the tribe of Dan they received Eltekeh, Gibbethon,(AJ) 24 Aijalon(AK) and Gath Rimmon,(AL) together with their pasturelands—four towns.

25 From half the tribe of Manasseh they received Taanach(AM) and Gath Rimmon, together with their pasturelands—two towns.

26 All these ten towns and their pasturelands were given to the rest of the Kohathite clans.(AN)

27 The Levite clans of the Gershonites were given:

from the half-tribe of Manasseh,

Golan in Bashan(AO) (a city of refuge for one accused of murder(AP)) and Be Eshterah, together with their pasturelands—two towns;

28 from the tribe of Issachar,(AQ)

Kishion,(AR) Daberath,(AS) 29 Jarmuth(AT) and En Gannim,(AU) together with their pasturelands—four towns;

30 from the tribe of Asher,(AV)

Mishal,(AW) Abdon,(AX) 31 Helkath and Rehob,(AY) together with their pasturelands—four towns;

32 from the tribe of Naphtali,

Kedesh(AZ) in Galilee (a city of refuge for one accused of murder(BA)), Hammoth Dor and Kartan, together with their pasturelands—three towns.

33 The total number of towns of the Gershonite(BB) clans came to thirteen, together with their pasturelands.

34 The Merarite clans (the rest of the Levites) were given:

from the tribe of Zebulun,(BC)

Jokneam,(BD) Kartah, 35 Dimnah and Nahalal,(BE) together with their pasturelands—four towns;

36 from the tribe of Reuben,

Bezer,(BF) Jahaz,(BG) 37 Kedemoth and Mephaath,(BH) together with their pasturelands—four towns;

38 from the tribe of Gad,

Ramoth(BI) in Gilead(BJ) (a city of refuge for one accused of murder), Mahanaim,(BK) 39 Heshbon and Jazer,(BL) together with their pasturelands—four towns in all.

40 The total number of towns allotted to the Merarite clans, who were the rest of the Levites, came to twelve.(BM)

41 The towns of the Levites in the territory held by the Israelites were forty-eight in all, together with their pasturelands.(BN) 42 Each of these towns had pasturelands surrounding it; this was true for all these towns.

43 So the Lord gave Israel all the land he had sworn to give their ancestors,(BO) and they took possession(BP) of it and settled there.(BQ) 44 The Lord gave them rest(BR) on every side, just as he had sworn to their ancestors. Not one of their enemies(BS) withstood them; the Lord gave all their enemies(BT) into their hands.(BU) 45 Not one of all the Lord’s good promises(BV) to Israel failed; every one was fulfilled.