Add parallel Print Page Options

Ensi y’Abagaadi

24 Musa yagabira ekika kya Gaadi omugabo ng’enju zaabwe bwe zaali:

25 (A)Ettaka lyabwe lyali Yazeri, n’ebibuga byonna ebya Gireyaadi, n’ekitundu ky’ensi y’abaana ba Amoni, okutuuka ku Aloweri okumpi ne Labba, 26 (B)n’okuva e Kesuboni okutuuka ku Lamasumizupe, ne Betonimu, era n’okuva ku Makanayimu okutuuka mu nsi y’e Debiri, 27 (C)ne mu kiwonvu, Besukalamu, ne Besu Nimira, ne Sukkosi, ne Zafoni, n’ekitundu ekyasigalawo ekyobwakabaka bwa Sikoni kabaka ow’e Kesuboni, Yoludaani n’ensalo yaagwo, okutuuka ku lubalama lw’ennyanja ey’e Kinneresi emitala wa Yoludaani ku luuyi olw’ebuvanjuba.

28 (D)Eyo y’ensi eyafuuka omugabo gw’abaana ba Gaadi ng’enju zaabwe bwe zaali, ebibuga n’ebyalo byamu.

Read full chapter

(A)Ne wabaawo n’abamu ku Baebbulaniya abaasomoka Yoludaani ne bagenda mu nsi ya Gaadi ne Gireyaadi.

Sawulo ye n’asigala e Girugaali, n’abaserikale bonna be yali nabo, naye nga bajjudde okutya.

Read full chapter

Okuwangula Sikoni Kabaka w’e Kesuboni

26 Nga tuli mu ddungu ly’e Kedemosi natumira Sikoni Kabaka w’e Kesuboni n’obubaka obw’okuteesa emirembe nga mmugamba nti,

Read full chapter

24 (A)Isirayiri n’amufumita n’obwogi bw’ekitala, n’atwala ensi ye okuva ku mugga Alunoni okutuuka ku mugga Yaboki, n’atuukira ddala ku Bamoni, n’akoma awo, kubanga Abamoni baali ba maanyi nnyo ku nsalo yaabwe.

Read full chapter

(A)Musa omuweereza wa Mukama n’abaana ba Isirayiri babawangula, era ensi yaabwe Musa omuweereza wa Mukama n’agiwa Abalewubeeni, n’Abagaadi n’ekitundu ky’ekika kya Manase.

Read full chapter