Okubala 32:29
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
29 Musa n’agamba nti, “Batabani ba Gaadi ne batabani ba Lewubeeni, buli musajja eyeetegese okutabaala mu maaso ga Mukama Katonda, bwe balisomoka nammwe Yoludaani, n’ensi eri mu maaso gammwe n’ewangulwa, kale mubawanga ensi ya Gireyaadi okubeera omugabo gw’obutaka bwabwe.
Read full chapter
Okubala 32:33
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
33 (A)Awo Musa n’abagabira, abaana ba Gaadi n’abaana ba Lewubeeni, n’ekitundu ky’ekika kya Manase mutabani wa Yusufu, obwakabaka bwa Sikoni kabaka w’Abamoli, n’obwakabaka bwa Ogi kabaka w’e Basani, n’abawa ensi n’ebibuga byamu, n’amatwale gaayo n’ebibuga byamu ebigyetoolodde.
Read full chapter
Yoswa 13:8
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Ensi Ebuvanjuba bwa Yoludaani
8 (A)Ekitundu ekirala ekya Manase, n’Abalewubeeni n’Abagaadi ne baweebwa omugabo gwabwe, Musa bwe yabawa emitala wa Yoludaani ku luuyi olw’ebuvanjuba nga Musa omuweereza wa Mukama bwe yabagabira.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.