Add parallel Print Page Options

(A)Si nze nkulagidde? Noolwekyo ddamu amaanyi, guma omwoyo, totya era toterebuka kubanga Mukama Katonda wo anaabanga naawe buli gy’onoogendanga.”

Read full chapter

(A)Bw’onooyitanga mu mazzi amawanvu
    nnaabeeranga naawe,
ne bw’onooyitanga mu migga
    tegirikusaanyaawo;
bw’onooyitanga mu muliro
    tegukwokyenga,
    ennimi z’omuliro tezirikwokya.

Read full chapter

(A)Totya, kubanga nze ndi nawe,
    ndireeta ezzadde lyo okuva ebuvanjuba
    era nkukuŋŋaanye okuva ebugwanjuba.

Read full chapter

31 (A)Kale tunaagamba ki ku bintu bino? Katonda bw’abeera ku lwaffe, ani asobola okutulwanyisa?

Read full chapter

13 (A)Kubanga nze Mukama Katonda wo
    akukwata ku mukono ogwa ddyo,
nze nkugamba nti,
    Totya nze nzija kukuyamba.
14 Wadde ng’oli lusiriŋŋanyi
    totya, ggwe Isirayiri,
kubanga nnaakuyamba,” bw’ayogera Mukama Omununuzi wo,
    Omutukuvu wa Isirayiri.

Read full chapter

(A)Bw’ati bw’ayogera Mukama oyo,
    eyakutonda era eyakubumba mu lubuto,
    ajja kukuyamba.
Totya ggwe Yakobo,[a] omuweereza wange,
    ggwe Yesuruni gwe nalonda.

Read full chapter

Footnotes

  1. 44:2 Wano Yakobo kitegeeza Isirayiri

Isirayiri Azzibwawo

(A)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,

“Ndikwanukula mu biro mwe ndisiimira,
    ku lunaku olw’obulokozi ndikuyamba.
Ndikukuuma ne nkufuula endagaano eri abantu,
    muliddayo ku ttaka lyammwe ne muddizibwa ebitundu byammwe ebyazika,

Read full chapter