Add parallel Print Page Options

(A)kale nno Mukama anaatera okubaleetako
    amazzi ag’Omugga, ag’amaanyi era amayitirivu,
    ye kabaka w’e Bwasuli n’ekitiibwa kye kyonna;
galisukka ensalosalo zonna,
    ne ganjaala ku ttale lyonna.

Read full chapter

(A)Beera n’amaanyi era ogume omwoyo. Tobatya wadde okubatekemukira, kubanga Mukama Katonda wo anaagendanga naawe buli w’onoddanga, taakulekenga so taakwabulirenga.”

Read full chapter

(A)Mukama Katonda yennyini y’ajjanga okukukulemberanga. Anaabanga naawe bulijjo, taakulekenga so taakwabulirenga. Totya so totekemuka.”

Read full chapter

(A)Amangwago mu kaseera katono Mukama Katonda ow’Eggye alikukyalira
    mu kubwatuuka ne mu musisi,
ne mu ddoboozi ery’omwanguka,
    ne mu kibuyaga ne mu nnimi z’omuliro omukambwe oguzikiriza.

Read full chapter

27 (A)Laba, erinnya lya Mukama liva wala
    n’obusungu obubuubuuka n’omukka ogukutte ng’ekire;
emimwa gye gijjudde ekiruyi,
    n’olulimi lwe muliro ogusaanyaawo.

Read full chapter

12 (A)Waleka abantu ne batulinnyirira;
    ne tuyita mu muliro ne mu mazzi,
    n’otutuusa mu kifo eky’okwesiima.

Read full chapter

25 N’ayogera nti, “Naye nga ndaba abasajja bana nga basumuluddwa nga batambulira wakati mu muliro, nga tebaliiko kabi ke bakolebbwako, so n’owookuna ng’afaanana ng’omwana wa bakatonda.”

26 (A)Nebukadduneeza n’alyoka asembera ku mulyango gw’ekikoomi ekyaka omuliro, n’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Saddulaaki, ne Mesaki, ne Abeduneego, abaddu ba Katonda Ali Waggulu Ennyo, mufulume mujje wano.”

Awo Saddulaaki, ne Mesaki ne Abeduneego ne bava mu muliro. 27 (B)Abaamasaza, n’abemiruka, n’abafuzi ab’ebitundu, n’abakungu ba kabaka ne bakuŋŋaana ne babeetegereza. Ne balaba ng’omuliro tegubookezza, so n’enviiri zaabwe nga tezisiridde, so n’engoye zaabwe nga tezookeddwa, so n’olusu lw’omuliro nga terubawunyako.

Read full chapter