Add parallel Print Page Options

Kigambo

(A)Kigambo yaliwo ng’ensi tennatondebwa. Kigambo[a] yali ne Katonda, era Kigambo yali Katonda. (B)Oyo, okuva ku lubereberye yaliwo ne Katonda.

(C)Ebintu byonna byatondebwa ku lulwe, era tewaliiwo kintu na kimu ekyatondebwa nga taliiwo. (D)Mu ye mwe mwali obulamu; era obulamu buno ne buba ekitangaala eri abantu. (E)Omusana ne gwaka mu kizikiza, naye ekizikiza tekyaguyinza.

(F)Ne walabika omuntu ng’ayitibwa Yokaana, Katonda gwe yatuma, (G)eyajja okutegeeza abantu ebifa ku musana, bonna bakkirize nga bayita mu ye. Yokaana si ye yali Omusana, wabula ye yatumibwa ategeeze eby’Omusana.

(H)Kristo ye yali Omusana, omusana ogw’amazima, ogujja mu nsi, okwakira buli muntu. 10 (I)Kyokka newaakubadde Kigambo oyo ye yatonda ensi, bwe yajja mu nsi, ensi teyamutegeera. 11 Yajja eri abantu be, naye abantu be ne batamusembeza. 12 (J)Naye bonna abaamusembeza, yabawa obuyinza okufuuka abaana ba Katonda; be bo abakkiriza erinnya lye. 13 (K)Abataazaalibwa musaayi, oba okwagala kw’omubiri, wadde okwagala kw’omuntu, naye abaazaalibwa okwagala kwa Katonda. 14 (L)Kigambo n’afuuka omubiri, n’abeera mu ffe, ne tulaba ekitiibwa kye, ng’eky’oyo omu yekka eyava eri kitaffe ng’ajjudde ekisa n’amazima.

15 (M)Yokaana Omubatiza yamwogerako, ng’alangirira nti, “Ono ye oyo gwe nayogerako nti, ‘Waliwo ajja emabega wange, eyansoka okubaawo, kubanga yaliwo nga sinnabaawo.’ ” 16 (N)Ku kujjula kwe ffenna kwe twagabana ekisa ekisukiridde ekisa. 17 (O)Amateeka gaatuweebwa nga gayita mu Musa, naye Yesu Kristo ye yaaleeta ekisa n’amazima. 18 (P)Tewali n’omu eyali alabye ku Katonda, okuggyako Omwana we omu yekka, abeera mu kifuba kya kitaffe, oyo ye yatutegeeza byonna ebimufaako.

Yokaana Omubatiza ategeeza nga bw’atali Kristo

19 (Q)Bino bye bigambo Yokaana Omubatiza bye yategeeza abakulembeze b’Abayudaaya bwe baamutumira bakabona n’Abaleevi okuva mu Yerusaalemi ne bamubuuza nti, “Ggwe ani?” 20 (R)Teyagaana kubaddamu, wabula yayatulira ddala nti, “Si nze Kristo.”

21 (S)Ne bamubuuza nti, “Kale ggwe ani? Ggwe Eriya?”

Yokaana Omubatiza n’addamu nti, “Nedda, si nze ye.”

Ne bongera okumubuuza nti, “Ggwe Nnabbi ayogerwako?”

N’addamu nti, “Nedda.”

22 Awo ne bamugamba nti, “Abatutumye tunaabagamba nti, Ggwe ani? Weeyita otya?” 23 (T)N’abaddamu nti,

“Nze ndi ddoboozi ly’oyo ayogerera mu ddoboozi ery’omwanguka ng’asinziira mu ddungu nti,
‘Mutereeze ekkubo lya Mukama mweteekereteekere okujja kwe, nga nnabbi Isaaya bwe yayogera.’ ”

24 Abaatumibwa baava eri Abafalisaayo. 25 Awo ne babuuza Yokaana nti, “Kale lwaki obatiza, obanga si ggwe Kristo oba Eriya oba nnabbi oli?”

26 Yokaana n’addamu nti, “Nze mbatiza na mazzi, naye waliwo ayimiridde wakati mu mmwe gwe mutamanyi, 27 (U)anvaako emabega, nze sisaanira na kusumulula buguwa bwa ngatto ze.” 28 (V)Ebyo byali Besaniya, emitala w’omugga Yoludaani, Yokaana Omubatiza gye yabatirizanga.

Yesu Omwana gw’Endiga owa Katonda

29 (W)Ku lunaku olwaddirira, Yokaana Omubatiza n’alaba Yesu ng’ajja, n’agamba nti, “Mulabe Omwana gw’Endiga owa Katonda aggyawo ebibi by’ensi. 30 (X)Ye wuuyo gwe nayogerako, bwe nagamba nti, ‘Waliwo omuntu anvaako emabega ye ansinga obuyinza, kubanga ye yaliwo nga nze sinnabaawo.’ 31 Nange nnali simumanyi, wabula nze najja okubatiza n’amazzi, ndyoke mulage eri abantu ba Isirayiri.”

32 (Y)Awo Yokaana Omubatiza n’abategeeza nga bwe yalaba Mwoyo Mutukuvu ng’akka okuva mu ggulu ng’ali ng’ejjiba n’abeera ku Yesu, 33 (Z)n’abagamba nti, “Nze saamutegeera, kyokka Katonda bwe yantuma okubatiza yaŋŋamba nti, ‘Bw’olabanga Mwoyo Mutukuvu ng’akka n’abeera ku muntu, nga oyo, ye Kristo abatiza ne Mwoyo Mutukuvu.’ 34 (AA)Ekyo nkirabye era nkiweerako obujulirwa nti Ye Mwana wa Katonda.”

Abayigirizwa ba Yesu Abaasooka

35 (AB)Awo ku lunaku olwaddirira nate Yokaana bwe yali ayimiridde n’abayigirizwa be babiri, 36 (AC)Yesu n’ayitawo ng’atambula. Yokaana n’amutunuulira enkaliriza n’agamba nti, “Mulabe Omwana gw’Endiga wa Katonda.”

37 Awo abayigirizwa abo ababiri bwe baawulira ekyo ne bagoberera Yesu. 38 (AD)Yesu bwe yakyuka n’abalaba nga bamugoberera n’ababuuza nti, “Mwagala ki?”

Ne bamuddamu nti, “Labbi” (ekitegeeza nti: “Omuyigiriza”), “obeera wa?”

39 N’abaddamu nti, “Mujje mulabeyo.”

Awo ne bagenda naye gye yali abeera, olunaku olwo ne baluzibiza eyo nga bali naye, obudde bwali ng’essaawa kkumi ez’olweggulo okutuusa akawungeezi.

40 Omu ku abo ababiri abaawulira Yokaana ng’ayogera ne bagoberera Yesu, yali Andereya, muganda wa Simooni Peetero. 41 (AE)Awo Andereya n’agenda anoonya muganda we Simooni n’amugamba nti, “Tulabye Masiya” (amakulu nti Kristo). 42 (AF)Andereya n’atwala Simooni eri Yesu.

Yesu bwe yeetegereza Simooni, n’amugamba nti, “Ggwe Simooni omwana wa Yokaana, kale onooyitibwanga Keefa,” amakulu nti Peetero.

Yesu Ayita Firipo ne Nassanayiri

43 (AG)Ku lunaku olwaddirira, Yesu n’agenda e Ggaliraaya, bwe yasanga Firipo n’amugamba nti, “Ngoberera.”

44 (AH)Firipo yali wa mu kibuga Besusayida ewaabwe wa Andereya ne Peetero. 45 (AI)Firipo bwe yalaba Nassanayiri, n’amugamba nti, “Tulabye Yesu mutabani wa Yusufu ow’e Nazaaleesi, Musa ne bannabbi gwe baawandiikako.”

46 (AJ)Nassanayiri n’amuddamu nti, “Mu Nazaaleesi musobola okuvaamu ekintu ekirungi?”

Firipo kwe kumuddamu nti, “Jjangu weerabireko.”

47 (AK)Nassanayiri bwe yali asemberera Yesu, Yesu n’agamba nti, “Laba, Omuyisirayiri wawu ataliimu bukuusa.”

48 Nassanayiri kwe kumuddamu nti, “Ontegedde otya?”

Yesu n’amugamba nti, “Firipo bw’abadde tannakutuukako, nkulabye ng’oli wansi w’omutiini.”

49 (AL)Nassanayiri n’amuddamu nti, “Labbi, oli Mwana wa Katonda, gwe Kabaka wa Isirayiri!”

50 Awo Yesu n’amugamba nti, “Okkiriza kubanga nkugambye nti nkulabye ng’oli wansi w’omutiini? Oliraba n’ebisinga awo obukulu. 51 (AM)Ddala ddala nkugamba nti oliraba eggulu nga libikkuse ne bamalayika ba Katonda nga balinnya era nga bakkira ku Mwana w’Omuntu.”

Footnotes

  1. 1:1 Kigambo ye Kristo

The Word Became Flesh

In the beginning was the Word,(A) and the Word was with God,(B) and the Word was God.(C) He was with God in the beginning.(D) Through him all things were made; without him nothing was made that has been made.(E) In him was life,(F) and that life was the light(G) of all mankind. The light shines in the darkness,(H) and the darkness has not overcome[a] it.(I)

There was a man sent from God whose name was John.(J) He came as a witness to testify(K) concerning that light, so that through him all might believe.(L) He himself was not the light; he came only as a witness to the light.

The true light(M) that gives light to everyone(N) was coming into the world. 10 He was in the world, and though the world was made through him,(O) the world did not recognize him. 11 He came to that which was his own, but his own did not receive him.(P) 12 Yet to all who did receive him, to those who believed(Q) in his name,(R) he gave the right to become children of God(S) 13 children born not of natural descent, nor of human decision or a husband’s will, but born of God.(T)

14 The Word became flesh(U) and made his dwelling among us. We have seen his glory,(V) the glory of the one and only Son, who came from the Father, full of grace(W) and truth.(X)

15 (John testified(Y) concerning him. He cried out, saying, “This is the one I spoke about when I said, ‘He who comes after me has surpassed me because he was before me.’”)(Z) 16 Out of his fullness(AA) we have all received grace(AB) in place of grace already given. 17 For the law was given through Moses;(AC) grace and truth came through Jesus Christ.(AD) 18 No one has ever seen God,(AE) but the one and only Son, who is himself God and[b](AF) is in closest relationship with the Father, has made him known.

John the Baptist Denies Being the Messiah

19 Now this was John’s(AG) testimony when the Jewish leaders[c](AH) in Jerusalem sent priests and Levites to ask him who he was. 20 He did not fail to confess, but confessed freely, “I am not the Messiah.”(AI)

21 They asked him, “Then who are you? Are you Elijah?”(AJ)

He said, “I am not.”

“Are you the Prophet?”(AK)

He answered, “No.”

22 Finally they said, “Who are you? Give us an answer to take back to those who sent us. What do you say about yourself?”

23 John replied in the words of Isaiah the prophet, “I am the voice of one calling in the wilderness,(AL) ‘Make straight the way for the Lord.’”[d](AM)

24 Now the Pharisees who had been sent 25 questioned him, “Why then do you baptize if you are not the Messiah, nor Elijah, nor the Prophet?”

26 “I baptize with[e] water,”(AN) John replied, “but among you stands one you do not know. 27 He is the one who comes after me,(AO) the straps of whose sandals I am not worthy to untie.”(AP)

28 This all happened at Bethany on the other side of the Jordan,(AQ) where John was baptizing.

John Testifies About Jesus

29 The next day John saw Jesus coming toward him and said, “Look, the Lamb of God,(AR) who takes away the sin of the world!(AS) 30 This is the one I meant when I said, ‘A man who comes after me has surpassed me because he was before me.’(AT) 31 I myself did not know him, but the reason I came baptizing with water was that he might be revealed to Israel.”

32 Then John gave this testimony: “I saw the Spirit come down from heaven as a dove and remain on him.(AU) 33 And I myself did not know him, but the one who sent me to baptize with water(AV) told me, ‘The man on whom you see the Spirit come down and remain is the one who will baptize with the Holy Spirit.’(AW) 34 I have seen and I testify that this is God’s Chosen One.”[f](AX)

John’s Disciples Follow Jesus(AY)

35 The next day John(AZ) was there again with two of his disciples. 36 When he saw Jesus passing by, he said, “Look, the Lamb of God!”(BA)

37 When the two disciples heard him say this, they followed Jesus. 38 Turning around, Jesus saw them following and asked, “What do you want?”

They said, “Rabbi”(BB) (which means “Teacher”), “where are you staying?”

39 “Come,” he replied, “and you will see.”

So they went and saw where he was staying, and they spent that day with him. It was about four in the afternoon.

40 Andrew, Simon Peter’s brother, was one of the two who heard what John had said and who had followed Jesus. 41 The first thing Andrew did was to find his brother Simon and tell him, “We have found the Messiah” (that is, the Christ).(BC) 42 And he brought him to Jesus.

Jesus looked at him and said, “You are Simon son of John. You will be called(BD) Cephas” (which, when translated, is Peter[g]).(BE)

Jesus Calls Philip and Nathanael

43 The next day Jesus decided to leave for Galilee. Finding Philip,(BF) he said to him, “Follow me.”(BG)

44 Philip, like Andrew and Peter, was from the town of Bethsaida.(BH) 45 Philip found Nathanael(BI) and told him, “We have found the one Moses wrote about in the Law,(BJ) and about whom the prophets also wrote(BK)—Jesus of Nazareth,(BL) the son of Joseph.”(BM)

46 “Nazareth! Can anything good come from there?”(BN) Nathanael asked.

“Come and see,” said Philip.

47 When Jesus saw Nathanael approaching, he said of him, “Here truly is an Israelite(BO) in whom there is no deceit.”(BP)

48 “How do you know me?” Nathanael asked.

Jesus answered, “I saw you while you were still under the fig tree before Philip called you.”

49 Then Nathanael declared, “Rabbi,(BQ) you are the Son of God;(BR) you are the king of Israel.”(BS)

50 Jesus said, “You believe[h] because I told you I saw you under the fig tree. You will see greater things than that.” 51 He then added, “Very truly I tell you,[i] you[j] will see ‘heaven open,(BT) and the angels of God ascending and descending(BU) on’[k] the Son of Man.”(BV)

Footnotes

  1. John 1:5 Or understood
  2. John 1:18 Some manuscripts but the only Son, who
  3. John 1:19 The Greek term traditionally translated the Jews (hoi Ioudaioi) refers here and elsewhere in John’s Gospel to those Jewish leaders who opposed Jesus; also in 5:10, 15, 16; 7:1, 11, 13; 9:22; 18:14, 28, 36; 19:7, 12, 31, 38; 20:19.
  4. John 1:23 Isaiah 40:3
  5. John 1:26 Or in; also in verses 31 and 33 (twice)
  6. John 1:34 See Isaiah 42:1; many manuscripts is the Son of God.
  7. John 1:42 Cephas (Aramaic) and Peter (Greek) both mean rock.
  8. John 1:50 Or Do you believe … ?
  9. John 1:51 The Greek is plural.
  10. John 1:51 The Greek is plural.
  11. John 1:51 Gen. 28:12