Add parallel Print Page Options

38 (A)Yesu bwe yakyuka n’abalaba nga bamugoberera n’ababuuza nti, “Mwagala ki?”

Ne bamuddamu nti, “Labbi” (ekitegeeza nti: “Omuyigiriza”), “obeera wa?”

Read full chapter

(A)Banyumirwa nnyo okuweebwa ekitiibwa mu butale n’okuyitibwa ‘Labbi.’

Read full chapter

34 (A)Kyenva mbaweereza bannabbi, n’abasajja ab’amagezi, n’abawandiisi, abamu mulibatta nga mubakomerera ku musaalaba, n’abalala mulibakuba embooko mu makuŋŋaaniro gammwe, ne mubagobaganya mu bibuga byammwe.

Read full chapter

(A)Setaani n’ajja gy’ali n’amugamba nti, “Obanga oli Mwana wa Katonda, lagira amayinja gano gafuuke emmere.”

Read full chapter

(A)“Aliwa eyazaalibwa nga Kabaka w’Abayudaaya? Kubanga twalaba emmunyeenye ye nga tuli mu buvanjuba, era tuzze okumusinza.”

Read full chapter

42 (A)“Yalokolanga balala, naye ye tasobola kwerokola! Kale nga bw’ali Kabaka wa Isirayiri, ave ku musaalaba akke wansi, naffe tunaamukkiriza!

Read full chapter

13 (A)ne bakwata amatabi g’enkindu ne bagenda okumusisinkana nga baleekaana nti,

“Ozaana.”

“Aweereddwa omukisa ajja mu linnya lya Mukama.”

“Ye Kabaka wa Isirayiri.”

Read full chapter