Yobu 15:7
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
7 (A)“Gwe wasooka abantu bonna okuzaalibwa?
Oba ggwe wazaalibwa ensozi nga tezinnabaawo?
Engero 8:25
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
25 (A)ng’ensozi tezinnateekebwa mu bifo byazo,
nga n’obusozi tebunnabaawo;
Zabbuli 102:24-27
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
24 (A)Ne ndyoka mmukaabira nti,
“Ayi Katonda wange, tontwala nga nkyali mu makkati g’emyaka gy’obulamu bwange,
ggw’abeera omulamu emirembe gyonna.
25 (B)Ku ntandikwa wassaawo omusingi gw’ensi;
n’eggulu gy’emirimu gy’emikono gyo.
26 (C)Byonna biriggwaawo, naye ggwe oli wa lubeerera.
Byonna birikaddiwa ng’ebyambalo.
Olibikyusa ng’ebyambalo, ne bisuulibwa.
27 (D)Naye ggwe tokyuka oli wa lubeerera
n’emyaka gyo tegirikoma.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.