Add parallel Print Page Options

(A)Emmunyeenye zonna ez’omu ggulu zirisaanuuka,
    n’eggulu liryezingako ng’omuzingo;
n’eggye ery’omu ggulu lirigwa,
    ng’ebikoola ebiwotose ebiva ku muzabbibu,
    ng’ebirimba ebyayongobera ebiva ku mutiini.

Read full chapter

35 (A)Eggulu n’ensi biriggwaawo naye ebigambo byange tebiriggwaawo.”

Read full chapter

(A)Era olw’ekigambo ekyo, eggulu n’ensi ebiriwo kaakano bikuumibwa nga birindiridde okwokebwa omuliro ku lunaku olw’okusalirako omusango, n’okuzikirizibwa kw’abo abatatya Katonda.

(B)Naye, abooluganda, temusaana, kwerabira nti mu maaso ga Mukama emyaka olukumi giri ng’olunaku olumu, era n’olunaku olumu luli ng’emyaka olukumi.[a] (C)Mukama waffe taludde kutuukiriza ekyo kye yasuubiza ng’abamu bwe balowooza. Wabula ye akyabagumiikiriza, nga tayagala muntu yenna kubula, naye bonna beenenye.

10 (D)Naye olunaku lwa Mukama waffe lulijja ng’omubbi bw’ajja nga tewali n’omu amanyi; eggulu lirivaawo nga liwuuma nnyo, n’ebiririko birizikirizibwa n’omuliro, era ensi n’ebintu ebigirimu birisirikka.

Read full chapter

Footnotes

  1. 3:8 laba Zab 90:4

Abafu Balamulwa

11 (A)Awo ne ndaba entebe ey’obwakabaka enjeru n’Oyo eyali agituddeko. Ensi n’ebbanga ne bidduka okuva mu maaso ge, naye nga tewali we biyinza kwekweka.

Read full chapter