Add parallel Print Page Options

(A)Nga luliba lwa nnaku olunaku olwo!
    Tewali lulirufaanana.
Kiriba kiseera kya kabi eri Yakobo,
    naye aliwona n’akiyitamu.

Read full chapter

23 (A)Era ekibuga ekyo tekyetaaga njuba wadde omwezi okukyakira, kubanga ekitiibwa kya Katonda kye kikimulisa, era Omwana gw’Endiga ye ttabaaza yaakyo. 24 (B)Ekitangaala kyakyo kye kinaamulisanga amawanga ag’omu nsi, era abafuzi ab’omu nsi balijja ne bakireetera ekitiibwa. 25 (C)Emiryango gyakyo tegiggalwenga emisana, era yo teriba kiro.

Read full chapter

(A)Teribaayo kiro, noolwekyo ettabaaza oba enjuba tebiryetaagibwa, kubanga Mukama Katonda y’anaabaakiranga era banaafuganga emirembe n’emirembe.

Read full chapter

26 (A)Omwezi gulyaka ng’enjuba, n’omusana gulyaka emirundi musanvu okusinga ogwa bulijjo, ng’ekitangaala ky’ennaku omusanvu zonna awamu, Mukama bw’alinyiga ekinuubule ky’abantu be, n’awonya ekiwundu ky’abaakosebwa.

Read full chapter