Add parallel Print Page Options

23 (A)Omwezi gulitabulwatabulwa, n’enjuba eriswazibwa;
    Mukama Katonda ow’Eggye alifugira mu kitiibwa
ku Lusozi Sayuuni ne mu Yerusaalemi,
    ne mu maaso g’abakadde.

Read full chapter

19 (A)Enjuba si yeenekumulisizanga emisana,
    oba omwezi okukumulisizanga ekiro.
Kubanga Mukama y’anaabeeranga ekitangaala kyo eky’emirembe n’emirembe,
    era Katonda wo y’anaabeeranga ekitiibwa kyo.
20 (B)Enjuba yo terigwa nate,
    n’omwezi gwo tegulibula;
Mukama y’anaabeeranga ekitangaala kyo eky’emirembe n’emirembe
    era ennaku zo ez’okukungubanga zikome.

Read full chapter

23 (A)Era ekibuga ekyo tekyetaaga njuba wadde omwezi okukyakira, kubanga ekitiibwa kya Katonda kye kikimulisa, era Omwana gw’Endiga ye ttabaaza yaakyo.

Read full chapter

(A)Teribaayo kiro, noolwekyo ettabaaza oba enjuba tebiryetaagibwa, kubanga Mukama Katonda y’anaabaakiranga era banaafuganga emirembe n’emirembe.

Read full chapter

39 (A)Mulabe kaakano, nga nze kennyini, nze Ye!
    Tewali katonda mulala wabula Nze;
nzita era ne nzuukiza,
    nfumita era ne mponya;
    era tewali atangira mukono gwange nga gukola.

Read full chapter

(A)Lwaki mweyongera okujeema?
    Mwagala mwongere okubonerezebwa?
Omutwe gwonna mulwadde,
    n’omutima gwonna gunafuye.

Read full chapter