Add parallel Print Page Options

Obuwulize eri Abakulembeze

Ani afaanana omuntu omugezi
    amanyi okunnyonnyola buli kintu?
Amagezi gaakaayakanyisa obwenyi bw’omuntu,
    ne gakyusa emitaafu gyamu.

Nkugamba nti gondera ekiragiro kya kabaka, kubanga walayira[a] mu maaso ga Katonda. (A)Toyanguyiriza kuva mu maaso ga kabaka. Kyokka ensonga bw’ebanga etali ntuufu, tobanga ku ludda lumuwakanya, kubanga ye akola buli ky’ayagala. (B)Kubanga ekigambo kya kabaka kisukkuluma byonna; kale ani ayinza okumubuuza nti, “Okola ki ekyo?”

Oyo agondera ekiragiro kye talituukibwako kabi,
    omutima ogw’amagezi gulimanya ekiseera ekisaana okukoleramu ekintu gundi, n’engeri ey’okukolamu ekintu ekyo.
(C)Kubanga waliwo ekiseera ekituufu n’enkola esaana ku buli kintu,
    newaakubadde ng’obuyinike bw’omuntu bumuzitoowerera okukamala.

Nga bwe watali muntu amanyi binaabaawo,
    kale ani ayinza okumutegeeza ebinajja?
Tewali muntu alina buyinza kufuga mpewo;
    bwe kityo tewali n’omu alina buyinza ku lunaku lwa kufa kwe.
Ng’omuntu bw’aweebwa ebiragiro mu biseera eby’olutalo,
    bwe kityo n’obutali butuukirivu bwe buduumira abo ababutambuliramu.

Ebyo byonna bye nalaba bwe nagezaako okwekenneenya buli kintu ekikolebwa wansi w’enjuba. Waliwo ekiseera omufuzi buli lw’abinika baafuga, kyokka nga yeerumya yekka. 10 (D)Ndabye abantu abakozi b’ebibi nga baziikibwa, abo abaawaanibwanga mu kibuga nga bazze mu kifo ekitukuvu. Na kino nakyo butaliimu.

11 Omuntu bw’asalirwa omusango n’atabonererezebwawo, emitima gy’ababi gijjula kuteekateeka kukola bubi. 12 (E)Newaakubadde ng’omuntu omubi azza emisango kikumi, ate n’awangaala, nkimanyi ng’abatuukirivu, abo abatya Katonda bijja kubagendera bulungi. 13 (F)Naye olwokubanga abakozi b’ebibi tebatya Katonda, tebiyinza kubagendera bulungi, era n’ennaku zaabwe zinaayitanga mangu ng’ekisiikirize.

14 (G)Waliwo ekintu ekirala ekiraga obutaliimu ekiri ku nsi: abantu abatuukirivu batukibwako ebyo ebisaanira ababi, ate abatali batuukirivu ne batuukibwako ebyo ebigwanira abatuukirivu. Kino nakyo nkiyita butaliimu. 15 (H)Bwe ntyo nteesa nti omuntu yeyagalire mu bulamu: kubanga wansi w’enjuba tewali kisinga, wabula omuntu okulya n’okunywa n’okweyagala. Kale essanyu linaamuwerekeranga mu mirimu gye, ennaku zonna ez’obulamu bwe Katonda bw’amuwadde wansi w’enjuba.

16 (I)Bwe nanoonyereza amagezi ne neetegereza okutegana kw’omuntu ku nsi kuno, nga teyeebaka emisana n’ekiro. 17 (J)Ne ndaba ebyo byonna Katonda by’akoze, nga tewali n’omu ayinza kutegeera Katonda by’akola wansi w’enjuba, omuntu ne bw’agezaako ennyo okukinoonyereza tayinza kukivumbula. Newaakubadde omuntu omugezi yeefuula nti akimanyi, tayinza kukitegeera.

Footnotes

  1. 8:2 Ekirayiro ekyo bwe bweyamo obw’obwesigwa, abaweereza ba kabaka bwe baakolanga eri Katonda.