Add parallel Print Page Options

Obunnabbi Obukwata ku Misiri

19 (A)Obunnabbi obukwata ku Misiri:

Laba, Mukama yeebagadde ku kire ekidduka ennyo
    ajja mu Misiri.
Ne bakatonda b’e Misiri balijugumira mu maaso ge,
    n’emitima gy’Abamisiri girisaanuukira munda mu bo.

Read full chapter

15 (A)“Kubanga laba Mukama Katonda alijjira mu muliro,
    era n’amagaali ge ag’embalaasi galiba ng’empewo ey’omuyaga.
Alijja n’obusungu bwe n’ekiruyi
    era alibanenya n’ennimi ez’omuliro.

Read full chapter

28 (A)Obusaale bwabwe bwogi,
    n’emitego gyabwe gyonna mireege.
Ebinuulo by’embalaasi zaabwe biriba ng’amayinja ag’embaalebaale,
    Ne nnamuziga w’amagaali gaabwe ng’adduka ng’embuyaga y’akazimu.

Read full chapter

49 (A)Mukama alikuleetera eggwanga eririva ewala ennyo, ku nkomerero y’ensi, ne likulumba, nga likukkako ng’empungu bw’eva waggulu n’ekka n’amaanyi ku nsi; liriba eggwanga ng’olulimi lwalyo tolutegeera.

Read full chapter

(A)Embalaasi zaabwe zidduka okukira engo,
    era mu bukambwe zikira emisege egy’ekiro.
Abasajja abeebagala embalaasi bava mu nsi ey’ewala
    era bajja beesaasaanyizza
ne banguwa okutuuka ng’ensega bw’erumba ky’eneerya.

Read full chapter