Add parallel Print Page Options

20 (A)Amulaamu n’awasa senga we Yokebedi; n’amuzaalira: Alooni ne Musa.

Amulaamu n’awangaala emyaka kikumi mu asatu mu musanvu.

Read full chapter

Ebyambalo by’Obwakabona

28 (A)“Muganda wo Alooni muyiteyo mu baana ba Isirayiri, awamu ne batabani be: Nadabu, ne Abiku, ne Eriyazaali, ne Isamaali, bajje bampeereze nga be bakabona.

Read full chapter

(A)“Alooni anaayotezanga obubaane buli nkya, bw’anajjanga okulongoosa ettaala. Era Alooni bw’anajjanga okukoleeza ettaala akawungeezi, anyookezenga obubaane mu maaso ga Mukama mu mirembe gyammwe gyonna. (B)Ku kyoto kino tojja kwoterezaako bubaane bulala, wadde ekiweebwayo ekyokebwa, newaakubadde eky’eŋŋaano era tojja kufukako ekiweebwayo eky’ekyokunywa. 10 (C)Alooni anaakolanga omukolo ogw’okulangiririra ku mayembe gaakyo omulundi gumu mu buli mwaka. Okulongoosa kuno okwa buli mwaka kunaakolebwanga n’omusaayi ogw’ekiweebwayo olw’ekibi mu mirembe gyammwe gyonna egigenda okujja. Ekyoto kya Mukama kino kitukuvu nnyo.”

Read full chapter

(A)Kale nno batabani ba Leevi, bakabona, banaavangayo ne basembera, kubanga Mukama Katonda wo yabalonda okumuweerezanga, n’okusabiranga emikisa mu linnya lya Mukama n’okutereezanga empaka zonna n’obulumbaganyi.

Read full chapter

23 (A)“Tegeeza Alooni ne batabani be nti, Bwe muti bwe munaasabiranga abaana ba Isirayiri omukisa: munaabagambanga nti:

Read full chapter