Add parallel Print Page Options

13 (A)Batabani ba Amulaamu baali

Alooni ne Musa.

Alooni yayawulibwa, ye n’abazzukulu be emirembe gyonna, atukuzenga ebintu ebitukuvu ennyo, okuwangayo ssaddaaka eri Mukama, n’okumuweerezanga, era n’okusabanga omukisa mu linnya lye emirembe gyonna.

Read full chapter

Embuga Ezinaasalirwangamu Emisango

(A)Bwe wanaabangawo emisango egireeteddwa mu mbuga yo nga mizibu gikukaluubiridde okusala, oba nga gya kuyiwa musaayi, oba gya kuwozaŋŋanya, oba kukubagana, oba ensonga endala zonna ezinaabangamu enkaayana mu bibuga byo, ensonga ezo zonna onoozitwalanga mu kifo Mukama Katonda wo ky’anaabanga yeerondedde. (B)Bw’onootuukanga eyo oneebuuzanga ku bakabona, be Baleevi, ne ku mulamuzi anaabanga akola omulimu ogwo mu kiseera ekyo. Banaakutegeezanga ensala yaabwe. 10 Onookoleranga ku nsala yaabwe eyo gye banaakuwanga mu kifo ekyo Mukama ky’anaabanga yeerondedde. Weegenderezanga nnyo n’okola ebyo bye banaabanga bakulagidde. 11 (C)Kinaakugwaniranga okukola ng’amateeka ge banaabanga bakunnyonnyodde bwe gagamba, n’ensala yaabwe nga bw’eneebanga gye banaakutegeezanga. Bye banaakutegeezanga tobivangako kulaga ku mukono ogwa ddyo oba ku gwa kkono.

Read full chapter