Add parallel Print Page Options

Ennyana eya Zaabu

32 (A)Abantu bwe baalaba nga Musa aluddeyo nnyo ku lusozi, ne bakuŋŋaanira awali Alooni, ne bamugamba nti, “Jjangu, otukolere bakatonda abanaatukulembera; kubanga Musa ono eyatuggya mu nsi y’e Misiri, tetumanyi kimutuuseeko.”

(B)Alooni n’abaddamu nti, “Mwambule empeta eza zaabu, bakyala bammwe, ne batabani bammwe, ne bawala bammwe ze bambadde ku matu gaabwe, muzindeetere.” Awo abantu bonna ne beenaanulako empeta zaabwe eza zaabu ez’oku matu, ne bazireetera Alooni. (C)Alooni n’azisaanuusa; zaabu eyavaamu n’agibumbamu ennyana, ng’agirongoosa n’ekyuma. Ne balyoka boogera nti, “Bano be bakatonda bo ggwe Isirayiri abaakuggya mu nsi y’e Misiri!”

(D)Alooni bwe yalaba ebyo, n’azimba ekyoto mu maaso g’ennyana, n’alyoka alangirira nti, “Enkya tujja kukolera Mukama embaga.” (E)Awo enkeera, abantu ne bazuukuka mu makya, ne bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa, ne baleeta n’ebiweebwayo olw’emirembe; ne batuula ne balya era ne banywa, ne basituka ne bakola effujjo.

(F)Mukama n’agamba Musa nti, “Serengeta, kubanga abantu bo be waggya mu nsi ey’e Misiri boonoonye; (G)bavudde mangu mu kkubo lye nabalagira; beekoledde ennyana ensaanuuse ne bagisinza, ne bagireetera ebiweebwayo, ne boogera nti, ‘Bano be bakatonda bo, ggwe Isirayiri, abaakuggya mu nsi y’e Misiri!’ ”

(H)Mukama n’agamba Musa nti, “Abantu bano mbalabye, era ndabye nga bakakanyavu. 10 (I)Kale, kaakano ndeka obusungu bwange bubabuubuukireko, mbazikirize; kyokka ggwe ndikufuula eggwanga ekkulu.”

Musa Yeegayirira Katonda

11 (J)Naye Musa ne yeegayirira Mukama Katonda we, n’agamba nti, “Lwaki obusungu bwo bubuubuukira abantu bo be waggya mu nsi y’e Misiri n’obuyinza, awamu n’omukono gwo ogw’amaanyi? 12 (K)Lwaki okwogeza Abamisiri nti, ‘Yabatwala ng’agenderedde kubakola kabi, abattire mu nsozi, abazikirize, bave ku nsi?’ Nyiigulukuka, obusungu obubuubuuka bukuveeko, oleme kuleeta bulabe ku bantu bo. 13 (L)Jjukira abaweereza bo Ibulayimu, ne Isaaka, ne Isirayiri, be walayirira ggwe kennyini, n’obagamba nti, ‘Ndyaza bazzukulu bammwe ng’emmunyeenye ez’oku ggulu, era n’ensi eno gye mbasuubizza ndigiwa bazzukulu bammwe, era eribeera omugabo gwammwe ennaku zonna.’ ” 14 (M)Mukama akabi ke yali ategese okukola abantu be n’atakaleeta.

Musa Azikiriza Ennyana

15 (N)Awo Musa n’aserengeta okuva ku lusozi ng’akutte mu mikono gye ebipande ebibiri eby’Endagaano, nga biwandiikiddwako ku njuyi zombi. 16 (O)Ebipande byakolebwa Katonda, n’ebiwandiike ebyaliko byali bya Katonda, nga ye yabisala ku bipande ebyo.

17 Yoswa bwe yawulira oluyoogaano lw’abantu nga baleekaana, n’agamba Musa nti, “Mu lusiisira eriyo okuyoogaana ng’okw’olutalo.”

18 Naye n’amuddamu nti,

“Siwulira maloboozi galeekaana olw’obuwanguzi,
    oba amaloboozi g’okwaziirana olw’okuwangulwa,
    naye maloboozi ga kuyimba ge mpulira.”

19 (P)Naye Musa bwe yasemberera olusiisira, n’alengera ennyana, n’alaba n’amazina; obusungu bwe ne bubuubuuka, n’asuula eri ebipande ebyali mu mikono gye, ne bimenyekera awo wansi w’olusozi. 20 (Q)N’addira ennyana gye baali bakoze n’agyokya mu muliro n’agisekulasekula, n’agimerungulira ddala ng’olufuufu; olufuufu n’alumansa ku mazzi n’agawa abaana ba Isirayiri ne baganywa.

21 Awo Musa n’agamba Alooni nti, “Abantu bano baakukoze ki, n’obaleetera okwonoona ennyo bwe batyo?”

22 (R)Alooni n’amuddamu nti, “Tonnyiigira nnyo, mukama wange, naawe abantu bano obamanyi, ng’emitima gyabwe bwe gyamanyiira okwonoona. 23 (S)Baŋŋambye nti, ‘Tukolere bakatonda abanaatukulembera kubanga Musa ono eyatuggya mu nsi y’e Misiri, tetumanyi kimutuuseeko.’ 24 (T)Nange kwe kubagamba nti, ‘Buli alina ebya zaabu abyeyambuleko,’ ne babimpa ne mbiteeka mu muliro, ne bivaamu ennyana eno.”

Abantu Abattibwa Abaleevi

25 Awo Musa bwe yalaba ng’abantu basasamadde, nga Alooni yali abalese ne basasamala, era ng’abalabe baabwe babasekerera, 26 n’ayimirira mu mulyango gw’olusiisira, n’agamba nti, “Ani ali ku ludda lwa Mukama? Ajje wano we ndi.” Awo batabani ba Leevi bonna ne bakuŋŋaanira w’ali. 27 (U)N’abagamba nti, “Bw’ati Mukama Katonda wa Isirayiri bw’ayogera nti, ‘Buli musajja yeesibe ekitala kye mu kiwato kye, muyiteeyite mu nsiisira okuva ku ludda olumu okutuuka ku ludda olulala, nga buli musajja atta muganda we ne mukwano gwe, ne muliraanwa we.’ ” 28 Abaleevi ne bakola nga Musa bwe yabalagira; era ku lunaku olwo abantu ng’enkumi ssatu ne battibwa. 29 Awo Musa n’agamba nti, “Mwawuddwa leero eri Mukama, bwe musse buli omu mutabani we, era ne muganda we; Mukama abawadde omukisa ku lunaku lwa leero.”

30 (V)Enkeera Musa n’agamba abantu nti, “Mwonoonye nnyo. Naye nze ka ŋŋende eri Mukama ndabe obanga nnaatangiririra ekibi kyammwe.” 31 (W)Bw’atyo Musa n’addayo eri Mukama, n’agamba nti, “Kitalo! Abantu bano nga boonoonye nnyo; bwe beekoledde bakatonda aba zaabu! 32 (X)Bw’oba osiima basonyiwe ekibi kyabwe; naye bwe kitaba kityo, nkwegayirira onsangule mu kitabo kyo ky’owandiise.”

33 (Y)Naye Mukama n’agamba Musa nti, “Oyo yekka ankozeeko ekibi gwe ndisangula mu kitabo kyange. 34 (Z)Kaakano genda otwale abantu mu kifo ekyo kye nakutegeeza; era, laba, malayika wange ajja kukukulembera. Naye ekiseera nga kituuse okubabonereza ndibabonerereza ddala olw’ekibi kyabwe.”

35 (AA)Awo Mukama n’aleetera abantu kawumpuli, kubanga beekolera ennyana, Alooni gye yababumbira.

The Golden Calf

32 When the people saw that Moses was so long in coming down from the mountain,(A) they gathered around Aaron and said, “Come, make us gods[a] who will go before(B) us. As for this fellow Moses who brought us up out of Egypt, we don’t know what has happened to him.”(C)

Aaron answered them, “Take off the gold earrings(D) that your wives, your sons and your daughters are wearing, and bring them to me.” So all the people took off their earrings and brought them to Aaron. He took what they handed him and made it into an idol(E) cast in the shape of a calf,(F) fashioning it with a tool. Then they said, “These are your gods,[b](G) Israel, who brought you up out of Egypt.”(H)

When Aaron saw this, he built an altar in front of the calf and announced, “Tomorrow there will be a festival(I) to the Lord.” So the next day the people rose early and sacrificed burnt offerings and presented fellowship offerings.(J) Afterward they sat down to eat and drink(K) and got up to indulge in revelry.(L)

Then the Lord said to Moses, “Go down, because your people, whom you brought up out of Egypt,(M) have become corrupt.(N) They have been quick to turn away(O) from what I commanded them and have made themselves an idol(P) cast in the shape of a calf.(Q) They have bowed down to it and sacrificed(R) to it and have said, ‘These are your gods, Israel, who brought you up out of Egypt.’(S)

“I have seen these people,” the Lord said to Moses, “and they are a stiff-necked(T) people. 10 Now leave me alone(U) so that my anger may burn against them and that I may destroy(V) them. Then I will make you into a great nation.”(W)

11 But Moses sought the favor(X) of the Lord his God. “Lord,” he said, “why should your anger burn against your people, whom you brought out of Egypt with great power and a mighty hand?(Y) 12 Why should the Egyptians say, ‘It was with evil intent that he brought them out, to kill them in the mountains and to wipe them off the face of the earth’?(Z) Turn from your fierce anger; relent and do not bring disaster(AA) on your people. 13 Remember(AB) your servants Abraham, Isaac and Israel, to whom you swore by your own self:(AC) ‘I will make your descendants as numerous as the stars(AD) in the sky and I will give your descendants all this land(AE) I promised them, and it will be their inheritance forever.’” 14 Then the Lord relented(AF) and did not bring on his people the disaster he had threatened.

15 Moses turned and went down the mountain with the two tablets of the covenant law(AG) in his hands.(AH) They were inscribed(AI) on both sides, front and back. 16 The tablets were the work of God; the writing was the writing of God, engraved on the tablets.(AJ)

17 When Joshua(AK) heard the noise of the people shouting, he said to Moses, “There is the sound of war in the camp.”

18 Moses replied:

“It is not the sound of victory,
    it is not the sound of defeat;
    it is the sound of singing that I hear.”

19 When Moses approached the camp and saw the calf(AL) and the dancing,(AM) his anger burned(AN) and he threw the tablets out of his hands, breaking them to pieces(AO) at the foot of the mountain. 20 And he took the calf the people had made and burned(AP) it in the fire; then he ground it to powder,(AQ) scattered it on the water(AR) and made the Israelites drink it.

21 He said to Aaron, “What did these people do to you, that you led them into such great sin?”

22 “Do not be angry,(AS) my lord,” Aaron answered. “You know how prone these people are to evil.(AT) 23 They said to me, ‘Make us gods who will go before us. As for this fellow Moses who brought us up out of Egypt, we don’t know what has happened to him.’(AU) 24 So I told them, ‘Whoever has any gold jewelry, take it off.’ Then they gave me the gold, and I threw it into the fire, and out came this calf!”(AV)

25 Moses saw that the people were running wild and that Aaron had let them get out of control and so become a laughingstock(AW) to their enemies. 26 So he stood at the entrance to the camp and said, “Whoever is for the Lord, come to me.” And all the Levites rallied to him.

27 Then he said to them, “This is what the Lord, the God of Israel, says: ‘Each man strap a sword to his side. Go back and forth through the camp from one end to the other, each killing his brother and friend and neighbor.’”(AX) 28 The Levites did as Moses commanded, and that day about three thousand of the people died. 29 Then Moses said, “You have been set apart to the Lord today, for you were against your own sons and brothers, and he has blessed you this day.”

30 The next day Moses said to the people, “You have committed a great sin.(AY) But now I will go up to the Lord; perhaps I can make atonement(AZ) for your sin.”

31 So Moses went back to the Lord and said, “Oh, what a great sin these people have committed!(BA) They have made themselves gods of gold.(BB) 32 But now, please forgive their sin(BC)—but if not, then blot me(BD) out of the book(BE) you have written.”

33 The Lord replied to Moses, “Whoever has sinned against me I will blot out(BF) of my book. 34 Now go, lead(BG) the people to the place(BH) I spoke of, and my angel(BI) will go before you. However, when the time comes for me to punish,(BJ) I will punish them for their sin.”

35 And the Lord struck the people with a plague because of what they did with the calf(BK) Aaron had made.

Footnotes

  1. Exodus 32:1 Or a god; also in verses 23 and 31
  2. Exodus 32:4 Or This is your god; also in verse 8