Add parallel Print Page Options

(A)Yambuka mu nsi ekulukutiramu amata n’omubisi gw’enjuki. Naye sijja kugenda nammwe; sirwa kubazikiririza mu kkubo, kubanga muli bantu ab’ensingo enkakanyavu.”

Read full chapter

Kubanga Mukama yali alagidde Musa nti, “Gamba abaana ba Isirayiri nti, ‘Mulina omutima omukakanyavu, era singa ntambula nammwe okumala akaseera wadde katono katya, nzija kubazikiriza. Kale kaakano mweyambulemu ebyokwewoomya byammwe, ndyoke ndabe kye nnaakola.’ ”

Read full chapter

(A)N’agamba nti, “Obanga kaakano nkusanyusizza, Ayi Mukama, jjangu, Mukama, ogende naffe. Newaakubadde ng’abantu bano balina ensingo nkakanyavu, naye tusonyiwe ebyonoono byaffe n’ebibi byaffe, otukkirize tubeere abantu bo ab’obusika bwo.”

Read full chapter

(A)Kubanga namanya obukakanyavu bwammwe;
    ebinywa by’ensingo nga bikakanyavu ng’ekyuma;
    ekyenyi ng’ekikomo.

Read full chapter

51 (A)“Mmwe abalina ensingo enkakanyavu, abatakomolebwanga mu mutima wadde amatu, muwakanya Mwoyo Mutukuvu bulijjo; era bajjajjammwe nga bwe baali, nammwe bwe mutyo bwe muli.

Read full chapter