Add parallel Print Page Options

Omukazi n’Ogusota

12 Ne wabaawo ekyewuunyo ekinene mu ggulu. Ne ndaba omukazi ng’ayambadde enjuba n’omwezi nga guli wansi wa bigere bye, ng’alina engule eyaliko emmunyeenye kkumi na bbiri ku mutwe gwe. (A)Yali lubuto era ng’akaaba ng’alumwa okuzaala. (B)Awo ne ndaba ekyewuunyo ekirala mu ggulu, era laba, ogusota ogumyufu nga gulina emitwe musanvu n’amayembe kkumi era nga ku mitwe egyo kuliko engule musanvu. (C)Ku mukira gw’ogusota kwali kuwalulirwako ekitundu ekimu ekyokusatu eky’emmunyeenye zonna eziri waggulu mu ggulu, ne guzisuula wansi ku nsi. Ne guyimirira mu maaso g’omukazi oyo, anaatera okuzaala nga gulindirira okulya omwana we nga yaakazaalibwa. (D)Omukazi n’azaala omwana owoobulenzi eyali agenda okufuga amawanga gonna n’omuggo ogw’ekyuma, amangwago n’akwakulibwa n’atwalibwa eri Katonda ku ntebe ye ey’obwakabaka. (E)Omukazi n’addukira mu ddungu eyali ekifo Katonda gye yategeka okumulabirira okumala ennaku Lukumi mu bibiri mu nkaaga.

(F)Ne wabaawo olutalo mu ggulu. Mikayiri ne bamalayika ab’omu kibinja kye ne balwanyisa ogusota n’eggye lya bamalayika baagwo. Ogusota ne guwangulwa era ne gusindiikirizibwa okuva mu ggulu. (G)Ogusota ogwo ogw’amaanyi, era gwe gusota ogw’edda oguyitibwa Setaani Omulimba, alimba ensi yonna, ne gusuulibwa wansi ku nsi n’eggye lyagwo lyonna.

10 (H)Ne mpulira eddoboozi ery’omwanguka mu ggulu nga ligamba nti,

“Kaakano obulokozi bwa Katonda, n’amaanyi ge
    n’obwakabaka bwa Katonda waffe
    awamu n’obuyinza bwa Kristo we bizze.
Kubanga omuloopi eyaloopanga baganda baffe,
    eri Katonda waffe emisana n’ekiro,
    agobeddwa mu ggulu.
11 (I)Ne bamuwangula
    olw’omusaayi gw’Omwana gw’Endiga,
    n’olw’ekigambo eky’obujulirwa bwabwe,
ne bawaayo obulamu bwabwe
    nga tebatya na kufa.
12 (J)Noolwekyo ssanyuka ggwe eggulu,
    nammwe abalituulamu musanyuke.
Naye mmwe ensi n’ennyanja zibasanze,
    kubanga Setaani asse gye muli
ng’alina obusungu bungi,
    ng’amanyi nti asigazza akaseera katono.”

13 (K)Awo ogusota bwe gwalaba nga gusuuliddwa ku nsi ne guyigganya omukazi eyazaala omwana owoobulenzi. 14 (L)Naye omukazi n’aweebwa ebiwaawaatiro bibiri ebinene ng’eby’empungu okubuuka agende mu ddungu mu kifo ekyamuteekerwateekerwa, gy’alabiririrwa era gy’akuumibwa, ogusota ne gutamukola kabi okumala ekiseera n’ekitundu ky’ekiseera. 15 Ogusota ne guwandula amazzi mangi okuva mu kamwa kaagwo ne ganjaala ne gafuuka omugga nga galaga omukazi gye yali, nga gafuba okumuzikiriza. 16 Naye ettaka ne liyamba omukazi bwe lyayasama ne limira omugga ogwo ogwayanjaala. 17 (M)Awo ogusota, nga gwonna gujjudde obusungu bungi, ne gugenda okulumba abaana b’omukazi abalala, abo bonna abaali bakwata amateeka ga Katonda era nga bajulira Yesu. 18 Ne guyimirira ku lubalama lw’ennyanja.

The Woman and the Dragon

12 A great sign(A) appeared in heaven:(B) a woman clothed with the sun, with the moon under her feet and a crown of twelve stars(C) on her head. She was pregnant and cried out in pain(D) as she was about to give birth. Then another sign appeared in heaven:(E) an enormous red dragon(F) with seven heads(G) and ten horns(H) and seven crowns(I) on its heads. Its tail swept a third(J) of the stars out of the sky and flung them to the earth.(K) The dragon stood in front of the woman who was about to give birth, so that it might devour her child(L) the moment he was born. She gave birth to a son, a male child, who “will rule all the nations with an iron scepter.”[a](M) And her child was snatched up(N) to God and to his throne. The woman fled into the wilderness to a place prepared for her by God, where she might be taken care of for 1,260 days.(O)

Then war broke out in heaven. Michael(P) and his angels fought against the dragon,(Q) and the dragon and his angels(R) fought back. But he was not strong enough, and they lost their place in heaven. The great dragon was hurled down—that ancient serpent(S) called the devil,(T) or Satan,(U) who leads the whole world astray.(V) He was hurled to the earth,(W) and his angels with him.

10 Then I heard a loud voice in heaven(X) say:

“Now have come the salvation(Y) and the power
    and the kingdom of our God,
    and the authority of his Messiah.
For the accuser of our brothers and sisters,(Z)
    who accuses them before our God day and night,
    has been hurled down.
11 They triumphed over(AA) him
    by the blood of the Lamb(AB)
    and by the word of their testimony;(AC)
they did not love their lives so much
    as to shrink from death.(AD)
12 Therefore rejoice, you heavens(AE)
    and you who dwell in them!
But woe(AF) to the earth and the sea,(AG)
    because the devil has gone down to you!
He is filled with fury,
    because he knows that his time is short.”

13 When the dragon(AH) saw that he had been hurled to the earth, he pursued the woman who had given birth to the male child.(AI) 14 The woman was given the two wings of a great eagle,(AJ) so that she might fly to the place prepared for her in the wilderness, where she would be taken care of for a time, times and half a time,(AK) out of the serpent’s reach. 15 Then from his mouth the serpent(AL) spewed water like a river, to overtake the woman and sweep her away with the torrent. 16 But the earth helped the woman by opening its mouth and swallowing the river that the dragon had spewed out of his mouth. 17 Then the dragon was enraged at the woman and went off to wage war(AM) against the rest of her offspring(AN)—those who keep God’s commands(AO) and hold fast their testimony about Jesus.(AP)

Footnotes

  1. Revelation 12:5 Psalm 2:9