Add parallel Print Page Options

(A)“N’oluvannyuma mu kwolesebwa kwange ekiro, ne ndaba ensolo enkambwe eyokuna, nga ya ntiisa, nga ya buyinza era nga ya maanyi mangi nnyo. Yalina amannyo amanene ag’ekyuma, n’erya n’ebetenta, n’erinnyirira ebyasigalawo. Yali yanjawulo ku nsolo enkambwe endala, ng’erina n’amayembe kkumi.

Read full chapter

20 Ate ne njagala n’okumanya ku by’amayembe ekkumi agaali ku mutwe gwayo, ne ku by’ejjembe liri eddala eryasibuka wakati mu go, asatu ne galivuunamira, ejjembe eryo lye lyalina amaaso n’akamwa akayogeranga eby’okwegulumiza, era mu buyinza nga lirabika okusinga ganne gaalyo.

Read full chapter

Ekisolo Ekyava mu Nnyanja

13 Awo ne ndaba ekisolo ekikambwe nga kiva mu nnyanja, nga kirina emitwe musanvu n’amayembe kkumi era nga kirina engule kkumi ku mayembe gaakyo, era ku buli mutwe nga kuwandiikiddwako amannya agavvoola Katonda.

Read full chapter

12 (A)Amaaso ge gaali ng’olulimi lw’omuliro ogwaka, era nga yeetikkidde engule nnyingi ku mutwe gwe, ng’alina erinnya eriwandiikiddwa, kyokka ye yekka nga y’alimanyi.

Read full chapter