Add parallel Print Page Options

Ekiragiro ku Bulongoofu bw’Olusiisira

Mukama Katonda n’agamba Musa nti, (A)“Lagira abaana ba Isirayiri buli mugenge bamufulumye ebweru w’olusiisira, na buli alina ekikulukuto ky’omusaayi, n’oyo anaabanga akutte ku mufu. (B)Abasajja n’abakazi bonna babafulumyenga ebweru w’olusiisira baleme okulufuula olutali lulongoofu, kubanga omwo mwe mbeera.” Awo abaana ba Isirayiri ne bakolanga bwe batyo ne babafulumyanga ebweru w’olusiisira. Ne bakola nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.

Read full chapter

14 (A)Mukama Katonda n’addamu Musa nti, “Singa kitaawe amuwandidde amalusu mu maaso, teyandibadde muswavu okumala ennaku musanvu? Kale mumusibire ebweru w’olusiisira okumala ennaku musanvu; bwe zinaggwaako ayinza okukomezebwawo.”

Read full chapter

Abasuuli Badduka

(A)Waaliwo abasajja bana abaagengewala[a] abaabeeranga ku mulyango gwa wankaaki w’ekibuga. Ne bagambagana bokka ne bokka nti, “Kiki ekitutuuza wano okutuusa okufa?

Read full chapter

Footnotes

  1. 7:3 Abagenge baali tebateekwa kuliraana muntu yenna okuggyako bagenge bannaabwe (Lv 13:46)

(A)Awo Mukama n’aleetera kabaka obulwadde n’agengewala[a], ennaku ze zonna okutuusa bwe yafa, era n’aggyibwako emirimu egy’obuvunaanyizibwa n’ateekebwa mu nnyumba ey’enjawulo. Azaliya n’asigira Yosamu[b] mutabani we okuvunaanyizibwanga ensonga zonna ez’omu lubiri, era n’afuganga n’abantu ab’omu nsi.

Read full chapter

Footnotes

  1. 15:5 Mu 2By 26:16-21, Katonda yaleeta ku kabaka ebigenge kubanga y’ewa omulimu ogwa bakabona (laba Lv 13:46)
  2. 15:5 Yosamu yafugira mu kiseera ekyo kyennyini Azaliya ng’akyali mulamu.

12 (A)Awo bwe yayingira mu kabuga akamu, abasajja kkumi nga bonna bagenge ne bajja okumusisinkana. Ne bayimirira walako

Read full chapter