Abakkolosaayi 3:11
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
11 Olwo tewaba kwawulamu, Muyonaani na Muyudaaya, eyakomolebwa n’ataakomolebwa, Omunnaggwanga, n’Omusukusi, omuddu n’ow’eddembe, wabula Kristo ye byonna, era abeera mu ffe ffenna.
Read full chapter
Yokaana 10:16
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
16 (A)Nnina n’endiga endala ezitali za mu kisibo kino, nazo kiŋŋwanidde okuzireeta, era nazo ziriwulira eddoboozi lyange, endiga zonna ne ziba ekisibo kimu era ne ziba n’omusumba omu.
Read full chapter
Yokaana 17:11
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
11 (A)Nze sikyali mu nsi, naye bo bali mu nsi, ate nga nzija gy’oli. Kitange Omutukuvu, be wampa bakuume mu linnya lyo, balyoke babeere bumu nga ffe bwe tuli obumu.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.