Add parallel Print Page Options

(A)(Edda mu Isirayiri, empisa ey’okununula n’okuwaanyisa, yali nga bw’eti: omuntu omu yaggyangamu engatto[a] ye, n’agiwa munne. Eno ye yali ng’enkola entuufu mu Isirayiri).

Awo omusajja n’agamba nti, “Kyegulire.” Amangwago Bowaazi n’aggyamu engatto ye.

Read full chapter

Footnotes

  1. 4:7 Mu bitundu ebyo eby’ensi, okuba n’engatto kaali kabonero akalaga ng’omuntu bw’ali omugagga (Zab 60:8).

11 (A)Awo abakadde n’abantu bonna abaali ku wankaaki ne boogera nti, “Tuli bajulirwa. Mukama Katonda amufaananye nga Laakeeri ne Leeya[a], abaazimbira awamu ennyumba ya Isirayiri. Naawe Bowaazi oyale mu Efulasi, era oyatiikirire mu Besirekemu,

Read full chapter

Footnotes

  1. 4:11 Ng’Abayisirayiri bonna bwe baali bazzukulu ba Laakeeri ne Leeya, bwe kityo ne Luusi yali jjajja wa Dawudi ne Kristo.