Add parallel Print Page Options

25 (A)Awo Mukama Katonda n’akkira mu kire n’ayogera ne Musa, n’addira ku mwoyo ogwali mu Musa n’agussa mu bakulembeze ensanvu. Omwoyo bwe baagufuna ne batandika okutegeeza obunnabbi, kyokka tebaddayo nate kukikola.

Read full chapter

10 (A)Osunieri n’ajjula Omwoyo wa Mukama n’akulembera Abayisirayiri, n’alumba Kusanurisaseyimu kabaka w’e Mesopotamiya era n’amuwangula kubanga Mukama yamuwaayo mu mikono gya Osunieri.

Read full chapter

34 (A)Omwoyo wa Mukama Katonda n’akka ku Gidyoni; n’afuuwa ekkondeere ng’ayita ab’essiga lya Abiyezeeri bamugoberere.

Read full chapter

(A)Awo Omwoyo wa Mukama Katonda n’amukkako, n’ayuzaayuza empologoma n’emikono gye ng’ayuzaayuza akabuzi akato, naye n’atabaako ky’ategeeza kitaawe newaakubadde nnyina.

Read full chapter

19 (A)Awo Omwoyo wa Mukama Katonda n’amukkako, n’aserengeta e Asukulooni[a] n’atta abasajja amakumi asatu, n’abambulamu ebyambalo byabwe, engoye zaabwe n’aziwa abavvuunula ekikokko. N’anyiiga nnyo, n’ayambuka n’addayo ewa kitaawe.

Read full chapter

Footnotes

  1. 14:19 Asukulooni kyali kibuga ky’Abafirisuuti.

14 (A)Bwe yali asemberera Leki Abafirisuuti ne bajja gy’ali nga baleekaana. Awo Omwoyo wa Mukama Katonda n’amukkako, emiguwa egyali gimusibye emikono ne giba ng’obugoogwa obwokeddwa omuliro, ne gisumulukuka okuva ku mikono gye.

Read full chapter

(A)Awo Sawulo bwe yawulira ebigambo ebyo, Omwoyo wa Katonda n’amukkako mu maanyi, obusungu bwe ne bubuubuuka nnyo.

Read full chapter

13 (A)Awo Samwiri n’addira ejjembe ly’amafuta, n’agamufukako mu maaso ga baganda be. Okuva ku lunaku olwo Omwoyo wa Mukama n’akka ku Dawudi mu maanyi mangi. Oluvannyuma Samwiri n’addayo e Laama.

Read full chapter

(A)Mwoyo wa Mukama alibeera ku ye,
    Mwoyo ow’amagezi n’okutegeera
    ne Mwoyo w’okusala ensonga, n’ow’amaanyi
    ne Mwoyo w’okumanya era n’okutya Mukama Katonda.

Read full chapter