Okubala 11:25
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
25 (A)Awo Mukama Katonda n’akkira mu kire n’ayogera ne Musa, n’addira ku mwoyo ogwali mu Musa n’agussa mu bakulembeze ensanvu. Omwoyo bwe baagufuna ne batandika okutegeeza obunnabbi, kyokka tebaddayo nate kukikola.
Read full chapter
Balam 3:10
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
10 (A)Osunieri n’ajjula Omwoyo wa Mukama n’akulembera Abayisirayiri, n’alumba Kusanurisaseyimu kabaka w’e Mesopotamiya era n’amuwangula kubanga Mukama yamuwaayo mu mikono gya Osunieri.
Read full chapter
Balam 6:34
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
34 (A)Omwoyo wa Mukama Katonda n’akka ku Gidyoni; n’afuuwa ekkondeere ng’ayita ab’essiga lya Abiyezeeri bamugoberere.
Read full chapter
Balam 11:29
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
29 (A)Awo Omwoyo wa Mukama Katonda n’ajja ku Yefusa; Yefusa n’asomoka Gireyaadi ne Manase, n’ayita ne mu Mizupa eky’e Gireyaadi, era mu Mizupa eky’e Gireyaadi gye yava okulumba abaana ba Amoni.
Read full chapter
Balam 13:25
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
25 (A)Omwoyo wa Mukama Katonda n’atandika okukolera mu Samusooni ng’ali mu Makanedani ekiri wakati w’e Zola ne Esutaoli.
Read full chapter
Balam 15:14
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
14 (A)Bwe yali asemberera Leki Abafirisuuti ne bajja gy’ali nga baleekaana. Awo Omwoyo wa Mukama Katonda n’amukkako, emiguwa egyali gimusibye emikono ne giba ng’obugoogwa obwokeddwa omuliro, ne gisumulukuka okuva ku mikono gye.
Read full chapter
1 Samwiri 11:6
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
6 (A)Awo Sawulo bwe yawulira ebigambo ebyo, Omwoyo wa Katonda n’amukkako mu maanyi, obusungu bwe ne bubuubuuka nnyo.
Read full chapter
1 Samwiri 16:13
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
13 (A)Awo Samwiri n’addira ejjembe ly’amafuta, n’agamufukako mu maaso ga baganda be. Okuva ku lunaku olwo Omwoyo wa Mukama n’akka ku Dawudi mu maanyi mangi. Oluvannyuma Samwiri n’addayo e Laama.
Read full chapter
1 Bassekabaka 18:46
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
46 (A)Amaanyi ga Mukama ne gakka ku Eriya ne yeesiba ekimyu, n’adduka ng’akulembedde Akabu okutuuka e Yezuleeri.
Read full chapter
2 Ebyomumirembe 24:20
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
20 (A)Awo Omwoyo wa Katonda n’akka ku Zekkaliya muzzukulu wa Yekoyaada, n’ayimirira mu maaso g’abantu n’ayogera nti, “Bw’ati bw’ayogera Katonda nti, ‘Lwaki mujeemera amateeka ga Mukama? Temujja kufuna mukisa kukulaakulana. Kubanga muvudde ku Mukama naye kyavudde abaleka.’ ”
Read full chapter
Isaaya 11:2
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
2 (A)Mwoyo wa Mukama alibeera ku ye,
Mwoyo ow’amagezi n’okutegeera
ne Mwoyo w’okusala ensonga, n’ow’amaanyi
ne Mwoyo w’okumanya era n’okutya Mukama Katonda.
1 Samwiri 11:6
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
6 (A)Awo Sawulo bwe yawulira ebigambo ebyo, Omwoyo wa Katonda n’amukkako mu maanyi, obusungu bwe ne bubuubuuka nnyo.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.