Add parallel Print Page Options

Amannya g’abo Abaazimba Bbugwe

(A)Awo Eriyasibu kabona asinga obukulu wamu ne baganda be bakabona ne batandika okukola n’okuddaabiriza Omulyango gw’Endiga. Ne baguwonga eri Mukama, ne bazzaamu n’enzigi zaagwo. Ne bakola okutuukira ddala ku Munaala gwe Kikumi, n’okweyongerayo okutuuka ku Munaala gwa Kananeri, ekifo kyonna ne bakiwonga eri Mukama. (B)Abasajja ab’e Yeriko ne bazimba ekitundu ekyaddirira, ne Zakkuli mutabani wa Imuli n’addaabiriza ekitundu ekyali kiddiridde.

(C)Batabani ba Kassena ne bazimba Omulyango ogw’Ebyennyanja, ne bazzaawo emyango n’enzigi zaagwo, n’eminyolo n’ebyuma byagwo mu kifo kyabyo. Meremoosi mutabani wa Uliya, muzzukulu wa Kakkozi n’addaabiriza ekitundu ekyaddirira; Mesullamu mutabani wa Berekiya, muzzukulu wa Mesezaberi n’addaabiriza ekitundu ekyaddako ekya Meremoosi. Zadooki mutabani wa Baana n’addaabiriza ekitundu ekyali kiriraanyeewo. (D)Abasajja Abatekowa ne baddaabiriza ekitundu ekyaddirira, naye abakungu baabwe ne bagaana okukolera wansi waabwe.

(E)Ne Yoyada mutabani wa Paseya ne Mesullamu mutabani wa Besodeya ne baddaabiriza Omulyango ogw’Edda, ne bazaamu emyango n’enzigi zaagwo, n’eminyolo n’ebyuma byagwo. (F)Ekifo ekyaddirira kyaddaabirizibwa Meratiya Omugibyoni n’abasajja ab’e Gibyoni ne Yadoni Omumeronoosi n’abasajja ab’e Mizupa. Ebyo by’ebifo ebyafugibwanga ow’essaza eriri emitala w’omugga Fulaati. (G)Wuziyeeri mutabani wa Kalukaya, omuweesi wa zaabu n’addaabiriza ekitundu ekyaddirira, ne Kananiya omukozi w’obuwoowo, n’addaabiriza ekitundu ekyaddirira, era abo ne baddaabiririza ddala Yerusaalemi okutuuka ku Bbugwe Omugazi. Lefaya mutabani wa Kuuli eyafuganga ekitundu ky’eggombolola ya Yerusaalemi n’addaabiriza ekitundu ekyaddirira. 10 Ekitundu ekyaddirira kyali kiriraanye ennyumba ya Yedaya mutabani wa Kalunafu, era ekyo kye yaddaabiriza; n’ekitundu ekyaddako Kattusi mutabani wa Kasabuneya n’akiddaabiriza. 11 (H)Malukiya mutabani wa Kalimu ne Kassubu mutabani wa Pakasumowaabu ne baddaabiriza ekitundu ekirala ekya bbugwe n’Omunaala ogw’Ekikoomi. 12 Eyaddaabiriza ekitundu ekyaddirira yali Sallumu mutabani wa Kallokesi ne bawala be, eyafuganga ekitundu ky’eggombolola ya Yerusaalemi ne bawala be.

13 (I)Kanuni n’abatuuze b’e Zanowa ne baddaabiriza Omulyango ogw’omu Kiwonvu, ne bazzaamu enzigi zaagwo, n’eminyolo gyagwo n’ebyuma byagwo mu bifo byabyo; ate era ne baddaabiriza n’ekitundu ekirala ekya bbugwe, olugendo lwa mita nga kikumi obuwanvu, okutuuka ku Mulyango ogw’Obusa.

14 (J)Malukiya mutabani wa Lekabu ow’eggombolola y’e Besukakkeremu n’addaabiriza Omulyango ogw’Obusa, n’azzaamu enzigi zaagwo, n’eminyolo gyagwo n’ebyuma byagwo mu bifo byabyo.

15 (K)Salluni mutabani wa Kolukoze ow’eggombolola y’e Mizupa n’addaabiriza Omulyango ogw’Oluzzi, n’azzaamu enzigi zaagwo n’emiryango gyagwo n’ebyuma byagwo. N’addaabiriza n’ekisenge eky’Ekidiba kya Seera[a] ekiriraanye ennimiro ya kabaka, okutuuka ku madaala agaserengeta okuva mu kibuga kya Dawudi. 16 (L)Nekkemiya mutabani wa Azubuki eyafuganga ekitundu ky’eggombolola y’e Besuzuli[b] n’addaabiriza ekitundu ekyaddirira okutuuka ku kifo ekyolekera ebiggya bya Dawudi, n’okutuuka ku kidiba ekyasimibwa, n’okutuuka ku Nnyumba y’Abalwanyi Abazira.

17 (M)Abaleevi nga bakulemberwamu Lekumu mutabani wa Baani ne baddaabiriza ekitundu ekyaddirira, ne Kasabiya eyafuganga ekitundu ky’eggombolola ly’e Keyira n’addaabiriza ekitundu ekyaddako ku lw’eggombolola ye. 18 Baganda baabwe nga bakulemberwamu Bavvayi mutabani wa Kenadadi eyafuganga ekitundu ekyokubiri eky’egombolola ly’e Keyira ne baddaabiriza ekitundu ekyaddirira. 19 Ezeri mutabani wa Yesuwa, omukulembeze w’e Mizupa n’addaabiriza ekitundu ekyaddirira, n’atuuka ku nsonda ya bbugwe, kye kitundu ekyolekedde awaakumirwanga ebyokulwanyisa. 20 Baluki mutabani wa Zabbayi n’addaabiriza ekitundu ekyaddirira n’obunyiikivu bungi, okuva ku nsonda ya bbugwe okutuuka ku mulyango gw’ennyumba ya Eriyasibu kabona asinga obukulu. 21 (N)Meremoosi mutabani wa Uliya, muzzukulu wa Kakkozi n’addaabiriza ekitundu ekyaddirira okuva ku mulyango gw’ennyumba ya Eriyasibu okutuuka ku nkomerero yaayo.

22 Bakabona ab’omu lusenyi ne baddaabiriza ekitundu ekyaddirira. 23 Ekitundu ekyaddirira ne kibuukibwa, Benyamini ne Kassubu ne baddaabiriza okwolekera ennyumba yaabwe, Azaliya mutabani wa Maaseya muzzukulu wa Ananiya naye n’addaabiriza ekifo ekiriraanye ennyumba ye. 24 (O)Binnuyi mutabani wa Kenadadi n’addaabiriza ekitundu ekyaddirira okuva ku nnyumba ya Azaliya okutuuka ku nsonda ya bbugwe, 25 (P)Palali mutabani wa Uzayi n’addaabiriza ekitundu kya bbugwe ku nsonda ya bbugwe, ekyolekedde omunaala ogwazimbibwa ku lubiri lwa kabaka olw’ekyengulu okuliraana oluggya lw’abambowa. Pedaya mutabani wa Palosi 26 (Q)n’abakozi ba yeekaalu abaabeeranga ku lusozi Oferi ne baddaabiriza ekitundu ekyaddirira okutuuka ku Mulyango gw’Amazzi ng’agenda ebuvanjuba ne ku munaala ogwazimbibwa. 27 (R)Abasajja b’e Tekowa ne baddaabiriza ekitundu ekyaddirira, okuva ku munaala omunene ogwazimbibwa okutuuka ku bbugwe w’e Oferi.

28 (S)Bakabona ne baddaabiriza ekyengulu w’Omulyango ogw’Embalaasi buli muntu okwolekera ennyumba ye. 29 Zadooki mutabani wa Immeri n’addaabiriza ekifo ekyolekedde ennyumba ye, ne Semaaya mutabani wa Sekaniya omukuumi w’omulyango gw’ebuvanjuba n’addaabiriza ekitundu ekyaddirira. 30 Kananiya mutabani wa Seremiya ne Kanuni mutabani wa Zalafu ow’omukaaga n’addaabiriza ekitundu ekyaddirira. Mesullamu mutabani wa Berekiya n’addaabiriza ekitundu ekyaddirira okwolekera amaka ge. 31 Malukiya omu ku baweesi ba zaabu n’addaabiriza ekitundu okutuuka ku nnyumba y’abaweereza ba yeekaalu, ne ku nnyumba ya basuubuzi okwolekera Omulyango Awaakeberebwanga Ebyamaguzi, n’okutuuka ku kisenge ekya waggulu ku nsonda. 32 (T)Abaweesi ba zaabu n’abasuubuzi ne baddaabiriza ekitundu ekiri wakati w’ekisenge ekya waggulu ku nsonda n’Omulyango gw’Endiga.

Footnotes

  1. 3:15 Seera kye kimu ne Sirowamu
  2. 3:16 Besuzuli yali nkambi ya magye g’abakuumi ba Dawudi (2Sa 23:8-39).

Builders of the Wall

Eliashib(A) the high priest and his fellow priests went to work and rebuilt(B) the Sheep Gate.(C) They dedicated it and set its doors in place, building as far as the Tower of the Hundred, which they dedicated, and as far as the Tower of Hananel.(D) The men of Jericho(E) built the adjoining section, and Zakkur son of Imri built next to them.

The Fish Gate(F) was rebuilt by the sons of Hassenaah. They laid its beams and put its doors and bolts and bars in place. Meremoth(G) son of Uriah, the son of Hakkoz, repaired the next section. Next to him Meshullam son of Berekiah, the son of Meshezabel, made repairs, and next to him Zadok son of Baana also made repairs. The next section was repaired by the men of Tekoa,(H) but their nobles would not put their shoulders to the work under their supervisors.[a]

The Jeshanah[b] Gate(I) was repaired by Joiada son of Paseah and Meshullam son of Besodeiah. They laid its beams and put its doors with their bolts and bars in place. Next to them, repairs were made by men from Gibeon(J) and Mizpah—Melatiah of Gibeon and Jadon of Meronoth—places under the authority of the governor of Trans-Euphrates. Uzziel son of Harhaiah, one of the goldsmiths, repaired the next section; and Hananiah, one of the perfume-makers, made repairs next to that. They restored Jerusalem as far as the Broad Wall.(K) Rephaiah son of Hur, ruler of a half-district of Jerusalem, repaired the next section. 10 Adjoining this, Jedaiah son of Harumaph made repairs opposite his house, and Hattush son of Hashabneiah made repairs next to him. 11 Malkijah son of Harim and Hasshub son of Pahath-Moab repaired another section and the Tower of the Ovens.(L) 12 Shallum son of Hallohesh, ruler of a half-district of Jerusalem, repaired the next section with the help of his daughters.

13 The Valley Gate(M) was repaired by Hanun and the residents of Zanoah.(N) They rebuilt it and put its doors with their bolts and bars in place. They also repaired a thousand cubits[c] of the wall as far as the Dung Gate.(O)

14 The Dung Gate was repaired by Malkijah son of Rekab, ruler of the district of Beth Hakkerem.(P) He rebuilt it and put its doors with their bolts and bars in place.

15 The Fountain Gate was repaired by Shallun son of Kol-Hozeh, ruler of the district of Mizpah. He rebuilt it, roofing it over and putting its doors and bolts and bars in place. He also repaired the wall of the Pool of Siloam,[d](Q) by the King’s Garden, as far as the steps going down from the City of David. 16 Beyond him, Nehemiah son of Azbuk, ruler of a half-district of Beth Zur,(R) made repairs up to a point opposite the tombs[e](S) of David, as far as the artificial pool and the House of the Heroes.

17 Next to him, the repairs were made by the Levites under Rehum son of Bani. Beside him, Hashabiah, ruler of half the district of Keilah,(T) carried out repairs for his district. 18 Next to him, the repairs were made by their fellow Levites under Binnui[f] son of Henadad, ruler of the other half-district of Keilah. 19 Next to him, Ezer son of Jeshua, ruler of Mizpah, repaired another section, from a point facing the ascent to the armory as far as the angle of the wall. 20 Next to him, Baruch son of Zabbai zealously repaired another section, from the angle to the entrance of the house of Eliashib the high priest. 21 Next to him, Meremoth(U) son of Uriah, the son of Hakkoz, repaired another section, from the entrance of Eliashib’s house to the end of it.

22 The repairs next to him were made by the priests from the surrounding region. 23 Beyond them, Benjamin and Hasshub made repairs in front of their house; and next to them, Azariah son of Maaseiah, the son of Ananiah, made repairs beside his house. 24 Next to him, Binnui(V) son of Henadad repaired another section, from Azariah’s house to the angle and the corner, 25 and Palal son of Uzai worked opposite the angle and the tower projecting from the upper palace near the court of the guard.(W) Next to him, Pedaiah son of Parosh(X) 26 and the temple servants(Y) living on the hill of Ophel(Z) made repairs up to a point opposite the Water Gate(AA) toward the east and the projecting tower. 27 Next to them, the men of Tekoa(AB) repaired another section, from the great projecting tower(AC) to the wall of Ophel.

28 Above the Horse Gate,(AD) the priests made repairs, each in front of his own house. 29 Next to them, Zadok son of Immer made repairs opposite his house. Next to him, Shemaiah son of Shekaniah, the guard at the East Gate, made repairs. 30 Next to him, Hananiah son of Shelemiah, and Hanun, the sixth son of Zalaph, repaired another section. Next to them, Meshullam son of Berekiah made repairs opposite his living quarters. 31 Next to him, Malkijah, one of the goldsmiths, made repairs as far as the house of the temple servants and the merchants, opposite the Inspection Gate, and as far as the room above the corner; 32 and between the room above the corner and the Sheep Gate(AE) the goldsmiths and merchants made repairs.

Footnotes

  1. Nehemiah 3:5 Or their Lord or the governor
  2. Nehemiah 3:6 Or Old
  3. Nehemiah 3:13 That is, about 1,500 feet or about 450 meters
  4. Nehemiah 3:15 Hebrew Shelah, a variant of Shiloah, that is, Siloam
  5. Nehemiah 3:16 Hebrew; Septuagint, some Vulgate manuscripts and Syriac tomb
  6. Nehemiah 3:18 Two Hebrew manuscripts and Syriac (see also Septuagint and verse 24); most Hebrew manuscripts Bavvai