Add parallel Print Page Options

46 (A)Abaaweerezanga mu yeekaalu be bano:

bazzukulu ba Zika, bazzukulu ba Kasufa, bazzukulu ba Tabbawoosi,

Read full chapter

21 (A)Naye abaweereza ba yeekaalu baabeeranga ku lusozi Oferi, era Zika ne Gisupa be baali abakulu baabwe.

Read full chapter

14 (A)Oluvannyuma lw’ebyo n’addaabiriza bbugwe ow’ebweru ow’ekibuga kya Dawudi, ku luuyi olw’ebugwanjuba olwa Gikoni, mu kiwonvu, okutuuka awayingirirwa mu Mulyango ogw’Ebyennyanja, n’okwetooloola olusozi lwa Oferi, n’okumuzimba n’amuzimba ng’asingako bbugwe eyaliwo obuwanvu. N’ateeka n’abaduumizi b’eggye mu bibuga byonna ebiriko bbugwe mu Yuda.

Read full chapter

(A)abantu bonna nga bassa kimu ne bakuŋŋaanira mu kifo ekigazi ekyali mu maaso g’Omulyango gw’Amazzi. Ne bagamba Ezera omuwandiisi, okuleeta Ekitabo ky’Amateeka ga Musa, Mukama ge yalagira Isirayiri.

Read full chapter

(A)N’akisomera mu kifo ekigazi mu maaso g’Omulyango gw’Amazzi mu ddoboozi ery’omwanguka, okuva ku makya okutuusa essaawa mukaaga ez’omu tuntu, mu maaso g’abasajja n’abakazi n’abalala abasobola okutegeera. Abantu bonna ne batega amatu okuwulira ebyava mu Kitabo ky’Amateeka.

Read full chapter

16 (A)Awo abantu ne bagenda ne bagaleeta ne beezimbira weema, abamu ku busolya bwabwe, ne mu mpya zaabwe, ne mu luggya lw’ennyumba ya Katonda, ne mu kibangirizi okuliraana Omulyango gw’Amazzi, ne mu kibangirizi okuliraana Omulyango gwa Efulayimu.

Read full chapter

37 (A)Bwe baatuuka ku Mulyango gw’Oluzzi, ne bambuka amadaala g’Ekibuga kya Dawudi okutuukira ddala ku bbugwe; ne bayita ku lubiri lwa Dawudi ne batuuka ku Mulyango ogw’Amazzi, oguli ku luuyi olw’ebuvanjuba.

Read full chapter