Add parallel Print Page Options

Erinnya lya Sayuuni Eriggya

62 (A)Ku lwa Sayuuni ssiisirike,
    era ku lwa Yerusaalemi ssiiwummule,
okutuusa nga obutuukirivu bwe butemagana ng’emmambya esala,
    obulokozi bwe ng’ettaala eyaka.
(B)Amawanga galiraba obutuukirivu bwo,
    era ne bakabaka bonna baliraba ekitiibwa kyo.
Oliyitibwa erinnya epya
    akamwa ka Mukama lye kalikuwa.
(C)Olibeera ngule etemagana mu mikono gya Mukama,
    enkuufiira y’obwakabaka mu mukono gwa Katonda wo.
(D)Ataliddayo kuyitibwa nti, Eyalekebwa,
    ensi yo teriddamu kuyitibwa nti, Yazika.
Naye oliyitibwa nti, Gwe nsanyukira,
    n’ensi yo eyitibwe nti, Eyafumbirwa.
Kubanga Mukama akusanyukira
    era ensi yo eribeera ng’omukazi afumbiddwa.
(E)Kubanga ng’omuvubuka bwawasa omuwala omuto
    bw’atyo eyakutonda bwalikulabirira.
Nga omugole omusajja bwasanyukira oyo gw’awasizza,
    bw’atyo Katonda bwalikusanyukira.

(F)Ntadde abakuumi ku bbugwe wo,
    ggwe Yerusaalemi abataasirike emisana n’ekiro.
Mmwe abakoowoola Mukama
    temuwummula.
(G)Era temumuganya kuwummula okutuusa nga azimbye Yerusaalemi
    era ng’agifudde ettendo mu nsi.

(H)Mukama yalayira n’omukono gwe ogwa ddyo
    era n’omukono gwe ogw’amaanyi:
“Siriddayo nate kuwaayo ŋŋaano yo kubeera mmere y’abalabe bo,
    era bannaggwanga tebaddeyo kunywa nvinnyo yo gy’otawaanidde.
Naye abo abagikungula be baligirya
    ne batendereza Mukama,
n’abo abanoga emizabbibu
    be baliginywera mu mpya z’omu watukuvu wange.”

10 (I)Muyiteemu, muyite mu miryango mugende!
Muzimbe oluguudo,
    mulugyemu amayinja.
Muyimusize amawanga ebbendera.

11 (J)Laba Mukama alangiridde
    eyo yonna ensi gy’ekoma,
nti, “Gamba omuwala wa Sayuuni nti,
    ‘Laba omulokozi wo ajja,
Laba aleeta n’ebirabo bingi,
    n’abantu b’anunudde bamukulembedde.’ ”
12 (K)Era baliyitibwa Abantu Abatukuvu,
    Abanunule ba Mukama,
ne Yerusaalemi kiyitibwe, Ekibuga Mukama ky’ayagala,
    Ekibuga Ekitakyali ttayo.