Add parallel Print Page Options

(A)Kubanga Mukama Katonda yakuyita okomewo,
    ng’omukazi eyali alekeddwawo ng’alina ennaku ku mutima;
omukazi eyafumbirwa ng’akyali muto, n’alekebwawo,”
    bw’ayogera Katonda wo.

Read full chapter

41 (A)Ndisanyuka olw’okubakolera ebirungi era awatali kubuusabuusa ndibasimba mu nsi eno n’omutima gwange gwonna n’emmeeme yange yonna.

Read full chapter

17 (A)Mukama Katonda ali naawe,
    ow’amaanyi alokola:
alikusanyukira,
    alikukkakkanyiza mu kwagala kwe,
    alikusanyukira n’okuyimba.”

Read full chapter

14 (A)“Mukomeewo mmwe abaana abanvaako,” bw’ayogera Mukama; “kubanga nze bbammwe, era ndibalondamu omu ku omu okuva mu buli kibuga, babiri babiri okuva mu buli kika mbaleete ku lusozi Sayuuni.

Read full chapter

19 (A)Era ndikwogereza ennaku zonna,
    ndikwogereza mu butuukirivu, ne mu mazima,
    ne mu kwagala ne mu kusaasira.

Read full chapter