Add parallel Print Page Options

Okusingibwa Omusango mu Maaso ga Mukama

64 (A)Kale singa oyuzizza eggulu n’okka wansi,
    ensozi ne zikankana mu maaso go!
(B)Ng’omuliro bwe gukoleerera mu buku,
    oba nga bwe gufumba amazzi ne gatuuka okwesera,
ka wansi omanyise erinnya lyo eri abalabe bo,
    n’amawanga galyoke gakankanire mu maaso go!
(C)Kubanga bwe wakola ebintu eby’entiisa bye twali tetusuubira,
    wakka ensozi ne ziryoka zikankanira mu maaso go.
(D)Okuva mu mirembe egy’edda teri yali awulidde
    oba kutu kwali kutegedde,
oba liiso lyali lirabye Katonda yenna okuggyako ggwe,
    alwanirira abo abamulindirira.
(E)Ojja n’odduukirira abo abakola eby’obutuukirivu n’essanyu,
    abo abajjukira amakubo go.
Naye bwe tweyongera okwonoona ne tugavaako, wakwatibwa obusungu.
    Ebbanga ddene lye tumaze mu bibi byaffe,
    ddala tulirokolebwa?
(F)Ffenna twafuuka batali balongoofu
    era obutuukirivu bwaffe buli nga nziina ezijjudde obukyafu[a].
Ffenna tuwotookerera ne tukala ng’ekikoola,
    era ebibi byaffe bitutwala nga mpewo.
(G)Tewali n’omu akoowoola linnya lyo
    oba eyewaliriza okukukwatako,
kubanga watwekweka tetukyalaba maaso go,
    era n’otuwaayo ne tuzikirira olw’ebibi byaffe.

(H)Ate ng’era, Ayi Mukama Katonda, ggwe Kitaffe.
    Ffe tuli bbumba, ggwe mubumbi,
    ffe ffenna tuli mulimu gwa mikono gyo.
(I)Tosunguwala kisukkiridde nnyo, Ayi Mukama Katonda,
    tojjukira bibi byaffe mirembe gyonna.
Weewaawo, tutunuulire, tusaba,
    kubanga tuli bantu bo.
10 Ebibuga byo ebitukuvu bifuuse malungu ne Sayuuni kifuuse ddungu,
    ne Yerusaalemi nakyo kifulukwa.
11 (J)Yeekaalu yaffe entukuvu ey’ekitiibwa
    bakitaffe gye bakutendererezangamu eyokebbwa omuliro,
    era byonna eby’obugagga bye twakuumanga byazikirira.
12 (K)Nga bino byonna biguddewo, Mukama, era toofeeyo?
    Onoosirika busirisi n’otubonereza ekisukiridde?

Footnotes

  1. 64:6 obukyafu wano kitegeeza abakyala nga bavudde mu nsonga yaabwe eya buli mwezi

64 [a]Oh, that you would rend the heavens(A) and come down,(B)
    that the mountains(C) would tremble before you!
As when fire sets twigs ablaze
    and causes water to boil,
come down to make your name(D) known to your enemies
    and cause the nations to quake(E) before you!
For when you did awesome(F) things that we did not expect,
    you came down, and the mountains trembled(G) before you.
Since ancient times no one has heard,
    no ear has perceived,
no eye has seen any God besides you,(H)
    who acts on behalf of those who wait for him.(I)
You come to the help of those who gladly do right,(J)
    who remember your ways.
But when we continued to sin against them,
    you were angry.(K)
    How then can we be saved?
All of us have become like one who is unclean,(L)
    and all our righteous(M) acts are like filthy rags;
we all shrivel up like a leaf,(N)
    and like the wind our sins sweep us away.(O)
No one(P) calls on your name(Q)
    or strives to lay hold of you;
for you have hidden(R) your face from us
    and have given us over(S) to[b] our sins.

Yet you, Lord, are our Father.(T)
    We are the clay, you are the potter;(U)
    we are all the work of your hand.(V)
Do not be angry(W) beyond measure, Lord;
    do not remember our sins(X) forever.
Oh, look on us, we pray,
    for we are all your people.(Y)
10 Your sacred cities(Z) have become a wasteland;
    even Zion is a wasteland, Jerusalem a desolation.(AA)
11 Our holy and glorious temple,(AB) where our ancestors praised you,
    has been burned with fire,
    and all that we treasured(AC) lies in ruins.
12 After all this, Lord, will you hold yourself back?(AD)
    Will you keep silent(AE) and punish us beyond measure?

Footnotes

  1. Isaiah 64:1 In Hebrew texts 64:1 is numbered 63:19b, and 64:2-12 is numbered 64:1-11.
  2. Isaiah 64:7 Septuagint, Syriac and Targum; Hebrew have made us melt because of