Add parallel Print Page Options

(A)“Kubanga nze, Mukama, njagala obwenkanya,
    nkyawa okunyaga era n’obutali butuukirivu.
Mu bwesigwa bwange ndibasasula
    era nkole nabo endagaano ey’emirembe n’emirembe.

Read full chapter

25 (A)obanga neeyagala olw’okuba n’obugagga obungi,
    oba olw’okuba emikono gyange gy’ali ginfunyisizza bingi;

Read full chapter

(A)Weewaawo okutya Katonda kulimu amagoba mangi, omuntu bw’amalibwa mu ekyo ky’alina. (B)Kubanga tetulina kye twajja nakyo mu nsi, era tetuliiko kye tuliggyamu nga tuvaamu. (C)Naye bwe tuba n’emmere, n’ebyokwambala ebyo bitumalenga. (D)Abo abaagala okugaggawala bagwa mu kukemebwa ne mu katego ak’okwegomba okw’obusirusiru era okw’akabi, okunnyika abantu mu kubula ne mu kuzikirira. 10 (E)Kubanga okululunkanira ensimbi y’ensibuko y’ebibi byonna, era olw’okululunkana okwo abamu bawabye, ne bava mu kukkiriza, ne beereetera obulumi bungi mu mitima gyabwe.

Read full chapter