Add parallel Print Page Options

(A)Tewali awaaba bya nsonga
    so tewali awoza mu mazima;
Beesiga ensonga ezitaliimu, ne boogera eby’obulimba,
    ne baleeta emitawaana ne bazaala obulabe.
(B)Baalula amagi ag’essalambwa
    ne balanga ewuzi za nnabbubi:
alya ku magi gaabwe afa
    n’eryo eriba lyatise livaamu mbalasaasa.
(C)Naye enkwe zaabwe ze bakola tezibayamba,
    ziri ng’engoye enkole mu wuzi za nnabbubi!
Tebasobola kuzeebikka.
    Emirimu gyabwe mirimu gya kwonoona, n’ebikolwa byabwe bulabe.
(D)Ebigere byabwe byanguyirira bikole ebibi
    era bapapirira bayiwe omusaayi ogutalina musango.
Ebirowoozo byabwe birowoozo bya bubi,
    n’okuzika n’okuzikiriza bye biba buli we bagenda.
(E)Ekkubo ery’emirembe tebalimanyi
    wadde okukozesa obwenkanya mu makubo gaabwe.
Beekubidde amakubo,
    tewali n’omu agayitamu afuna emirembe.

Read full chapter

14 (A)Era ne mu bannabbi ba Yerusaalemi
    ndabye ekintu ekibi ennyo.
    Bakola eby’obwenzi ne batambulira mu bulimba.
Bagumya abo abakozi b’ebibi
    ne wataba n’omu ava mu kwonoona kwe.
Bonna bali nga Sodomu gye ndi;
    abantu ba Yerusaalemi bali nga Ggomola.”

Read full chapter