Add parallel Print Page Options

Ekikopo ky’Obusungu bwa Mukama

17 (A)Zuukuka, zuukuka, oyimirire ggwe Yerusaalemi
    eyanywa okuva eri Mukama ekikompe eky’obusungu bwe,
eyanywa n’omaliramu ddala
    ekibya ekitagaza.

Read full chapter

(A)Zuukuka,
    zuukuka oyimuke otuyambe Ayi Mukama Katonda.
Kozesa amaanyi go otuyambe.
    Gakozese nga edda.
Si ggwe wuuyo eyatemaatemamu Lakabu obufiififi?
    Si ye ggwe eyafumita ogusota?

Read full chapter

(A)Muganda wo Alooni mutungire ebyambalo ebitukuvu, nga bya kitiibwa era nga birabika bulungi.

Read full chapter

40 (A)Batabani ba Alooni bakolere amakooti, n’emisipi, n’enkuufiira; nga byonna bya kitiibwa era nga birabika bulungi nnyo.

Read full chapter

(A)Abantu bo balyewaayo bokka mu ggye lyo
    ng’ekiseera ky’olutalo kituuse.
Abavubuka bo,
    nga bali mu by’ekitiibwa ekitukuvu,
    balikukuŋŋaanirako ng’omusulo bwe gulabika ng’obudde bwakakya.

Read full chapter

(A)Malayika n’agamba abaali bayimiridde mu maaso ge nti, “Mumwambulemu ebyambalo bye ebijjudde ekko.”

N’agamba Yoswa nti, “Laba nkuggyeeko ekibi kyo, era nnaakwambaza ebyambalo eby’omuwendo.”

Read full chapter

Abatuuze Abapya aba Yerusaalemi

11 (A)Abakulembeze b’abantu ne babeeranga mu Yerusaalemi, abantu abalala ne bakuba akalulu okulonda omuntu omu ku buli bantu kkumi okugenda okubeera mu Yerusaalemi, ekibuga ekitukuvu; omwenda bo ne basigala mu byalo byabwe.

Read full chapter

(A)Awo Setaani n’amutwala mu kibuga ekitukuvu n’amussa ku kitikkiro kya Yeekaalu.

Read full chapter

(A)Ne ndaba ekibuga ekitukuvu Yerusaalemi ekiggya nga kikka okuva ewa Katonda mu ggulu, nga kiri ng’omugole bw’abeera ku mbaga ey’obugole bwe, ng’ayonjereddwa bbaawe.

Read full chapter

15 (A)Yimusa amaaso, tunula ku nsozi, laba,
    ebigere ebirungi eby’oyo aleese amawulire amalungi,
    alangirira emirembe.
Ggwe Yuda kwata embaga zo entukuvu,
    era otuukirize obweyamo bwo;
omubi kaakano takyakulumba,
    azikiririzibbwa ddala, tolimulaba nate.

Read full chapter

27 (A)Tewali ekitali kirongoofu ekirikkirizibwa okuyingira mu kyo, wadde abo abatambulira mu mpisa ezitali nnongoofu oba abalimba, wabula abalikibeeramu, beebo bokka, amannya gaabwe agaawandiikibwa mu kitabo eky’obulamu eky’Omwana gw’Endiga.

Read full chapter