Add parallel Print Page Options

13 (A)Noolwekyo ndikankanya eggulu,
    era n’ensi ngiyuuguumye okuva mu kifo kyayo,
olw’obusungu bwa Mukama Katonda ow’Eggye,
    ku lunaku lw’obusungu bwe obungi.

Read full chapter

10 (A)Naye olunaku lwa Mukama waffe lulijja ng’omubbi bw’ajja nga tewali n’omu amanyi; eggulu lirivaawo nga liwuuma nnyo, n’ebiririko birizikirizibwa n’omuliro, era ensi n’ebintu ebigirimu birisirikka.

Read full chapter

(A)Bwe ndikusaanyaawo,
    ndibikka eggulu
ne nfuula emmunyeenye zaakwo
    okubaako ekizikiza;
Ndibikka omusana n’ekire, era n’omwezi tegulireeta kitangaala kyagwo.
    Ebitangaala byonna eby’omu ggulu, ndibifuula enzikiza;
    era n’ensi yo yonna ndigireetako enzikiza, bw’ayogera Mukama Katonda.

Read full chapter

31 (A)Enjuba erifuuka ekizikiza,
    n’omwezi gulimyuka ng’omusaayi,
    olunaku lwa Mukama olukulu era olw’entiisa nga terunnatuuka.

Read full chapter

29 (A)“Amangu ddala ng’okubonyaabonyezebwa

“kw’omu nnaku ezo kuwedde,
    ‘enjuba eriggyako ekizikiza
era n’omwezi teguliyaka,
    n’emmunyeenye zirigwa n’amaanyi g’eggulu galinyeenyezebwa.’ ”

Read full chapter

13 (A)Awo emmunyeenye ez’omu ggulu ne zigwa ku nsi ng’omutiini bwe gukunkumula emitiini egitanayengera olwa kibuyaga ow’amaanyi,

Read full chapter