Add parallel Print Page Options

(A)Ekimuli ekyo ekiwotoka eky’obulungi bw’ekitiibwa kye
    ekiri waggulu w’ekiwonvu ekigimu,
kiriba ng’ettiini erisooka okwengera nga n’amakungula tegannatuuka,
    era omuntu bw’aliraba alinoga n’alirya.

Read full chapter

(A)Ekibbo ekimu kyalimu ettiini nga nnungi nnyo ng’eyo esooka okwengera, n’ekibbo ekirala kyalimu ettiini nga mbi nnyo, ezitayinza kuliika.

Read full chapter

10 (A)We nasangira Isirayiri,
    kyali nga kulaba zabbibu mu ddungu.
Bwe nalaba bajjajjammwe,
    kyali nga kulaba ebibala ebisooka ku mutiini.
Naye bwe bajja e Baalipyoli,
    beewonga eri ekifaananyi eky’ensonyi,
    ne bafuuka ekyenyinnyalwa ng’ekifaananyi kye baayagala.

Read full chapter

Ddala zinsanze nze.
    Ndi ng’omuntu akungula ebibala
    okuva mu bifo eby’enjawulo eby’ennimiro y’emizabbibu;
tewali kirimba kya mizabbibu kulyako,
    wadde emizeeyituuni egisooka okwengera gye njagala ennyo.

Read full chapter

12 (A)Ebigo byo byonna biri ng’emitiini
    egiriko ebibala ebisooka okwengera;
bwe ginyeenyezebwa
    ne bigwa mu kamwa k’oyo anaabirya.

Read full chapter

12 (A)Tukeere tugende mu nnimiro z’emizabbibu,
    tulabe obanga emizabbibu gimulisizza,
obanga n’ebimuli byagwo byanjuluzza,
    obanga n’emikomamawanga gimulisizza,
    era eyo gye nnaakulagira okwagala kwange.

Read full chapter