Add parallel Print Page Options

Isirayiri Asinza Bakatonda Abalala mu Sitimu

25 (A)Isirayiri bwe yali mu Sitimu, abasajja ne batandika okwenda n’abakazi ba Mowaabu, (B)abaabayitanga ku kuwaayo ebiweebwayo eri bakatonda baabwe. Abaana ba Isirayiri ne balya era ne bavuunamira bakatonda abo. (C)Bw’atyo Isirayiri n’ayingirira eby’okusinzanga Baali ow’e Peoli. Obusungu bwa Mukama ne bubabuubuukirako.

(D)Mukama n’agamba Musa nti, “Kwata abakulembeze b’abantu bano obatte, obaanike mu maaso ga Mukama abantu bonna we babalabira, obusungu bwa Mukama bulyoke bukkakkane buve ku Isirayiri.”

(E)Musa n’agamba abalamuzi ba Isirayiri nti, “Buli omu ku mmwe atte abo abali mu mmwe abeegasse mu kusinza Baali ow’e Peoli.”

Read full chapter

28 (A)Baatandika okusinza Baali e Peoli;
    ne balya ebyaweebwangayo eri bakatonda abataliimu bulamu.
29 Ne banyiiza Katonda olw’ebikolwa byabwe ebibi;
    kawumpuli kyeyava abagwamu.

Read full chapter

13 (A)Mulina bakatonda abenkana ebibuga byammwe obungi, ggwe Yuda; n’ebyoto bye mukoze okwoterezaako obubaane eri Baali byenkana enguudo za Yerusaalemi obungi.’ 

Read full chapter

14 (A)“Siribonereza bawala bammwe
    olw’okubeera bamalaaya,
newaakubadde baka baana bammwe
    okukola eby’obwenzi,
kubanga abasajja bennyini bassa bumu ne bamalaaya,
    ne baweerayo ssaddaaka ne bamalaaya ab’omu masabo;
    abantu abatategeera balizikirira.

Read full chapter