Add parallel Print Page Options

(A)Laba, Mukama wa maanyi mangi ddala,
    ng’embuyaga ey’omuzira n’embuyaga ezikiriza,
ng’enkuba ey’amaanyi ereeta amataba,
    bwe ndisuula ekibuga ekyo n’amaanyi mangi.

Read full chapter

18 (A)N’endagaano gye walagaana n’okufa erijjulukuka,
    n’endagaano gye walagaana n’amagombe terinywera.
Ekikangabwa eky’amaanyi bwe kirijja,
    kiribagwira.

Read full chapter

(A)kale nno Mukama anaatera okubaleetako
    amazzi ag’Omugga, ag’amaanyi era amayitirivu,
    ye kabaka w’e Bwasuli n’ekitiibwa kye kyonna;
galisukka ensalosalo zonna,
    ne ganjaala ku ttale lyonna.
(B)Era galyeyongera ne ganjaala mu Yuda,
    galyanjaala ne gamuyitamu gakome ne mu bulago,
n’emikutu gyago gyegolole okujjuza ensi yo,
    ggwe Emmanweri.”

Read full chapter

28 (A)Omukka gwe guli ng’omugga gw’amazzi
    agakulukuta n’amaanyi, agabimba okutuuka mu bulago.
Anyeenyanyeenya amawanga mu kakuŋŋunta ak’okuzikirizibwa
    era mu mba z’abantu ateekamu eddobo ery’okubawabya.

Read full chapter

22 (A)Oluvannyuma lw’ebyo eggye ery’amaanyi liriwangulwa ne lizikirizibwa mu maaso ge; n’omulangira ow’endagaano naye alizikirizibwa.

Read full chapter

15 (A)Omutwe be bakadde n’abantu ab’ekitiibwa,
    n’omukira be bannabbi abayigiriza eby’obulimba.

Read full chapter

15 (A)Zibasanze abo abakola kyonna kye basobola
    okukweka Mukama enteekateeka zaabwe,
abo abakola emirimu gyabwe mu kizikiza nga bagamba nti,
    “Ani atulaba? Ani alimanya?”

Read full chapter