Add parallel Print Page Options

(A)naye anaasaliranga abaavu emisango mu bwenkanya,
    era asalire mu bwenkanya abo abawombeefu ab’omu nsi;
era alikuba ensi n’omuggo ogw’omu kamwa ke,
    era alitta omukozi w’ebibi n’omukka ogw’omu kamwa ke.

Read full chapter

(A)Era galyeyongera ne ganjaala mu Yuda,
    galyanjaala ne gamuyitamu gakome ne mu bulago,
n’emikutu gyago gyegolole okujjuza ensi yo,
    ggwe Emmanweri.”

Read full chapter

(A)“Kubanga ndiwa ekiragiro,
    ennyumba ya Isirayiri erinyeenyezebwa
    mu mawanga gonna,
ng’emmere ey’empeke bwe kuŋŋutibwa mu kakuŋŋunta
    era tewaliba kayinja akaligwa wansi.

Read full chapter

28 (A)Kubanga ondaze obuswandi bwo,
    n’obujoozi bwo
ne mbuwulira mu matu gange,
    kyendiva nteeka eddobo lyange mu nnyindo yo
n’olukoba lwange mu mumwa gwo,
    era oliddirayo mu kkubo lye wajjiramu.’

Read full chapter

29 (A)Kubanga oneereegeddeko,
    okwepanka kw’okoze nkutuuseeko.
Era kaakano ntuuse okuteeka eddobo mu nnyindo zo,[a]
    n’oluuma ndufumite mu mimwa gyo,
nkuzzeeyo
    ng’opaala mu kkubo lye wajjiramu.”

Read full chapter

Footnotes

  1. 37:29 Abasuli baateekanga amalobo mu nnyindo zaabo be baawambanga, ne baddira n’oluuma ne bafumita mu mimwa gy’abo be baawambanga