Add parallel Print Page Options

(A)Mu biro ebyo balyogera nti,

“Eky’amazima oyo ye Katonda waffe;
    twamwesiga n’atulokola.
Ono ye Mukama Katonda twamwesiga;
    tusanyukire mu bulokozi bwe, era tumujagulizeemu.”

Read full chapter

18 (A)kyokka ndijaguliza Mukama,
    ne nsanyukira mu Katonda Omulokozi wange.

Read full chapter

(A)Bakabona bo bambazibwe obutuukirivu,
    n’abatukuvu bo bayimbe n’essanyu.

Read full chapter

Katonda Alizzaawo Yerusaalemi

52 (A)Zuukuka, zuukuka,
    oyambale amaanyi go, ggwe Sayuuni.
Ggwe Yerusaalemi ekibuga ekitukuvu,
    teekako ebyambalo byo ebitemagana.
Kubanga okuva leero mu miryango gyo
    temukyayingira mu atali mukomole n’atali mulongoofu.

Read full chapter

18 (A)Yimusa amaaso go otunule enjuuyi zonna olabe.
    Abantu bo beekuŋŋaanya bajja gy’oli.
Nga bwe ndi Katonda omulamu,
    balikwesiimisa, obambale ng’ebikomo n’emidaali ebyebbeeyi
    ng’omugole bw’ayambala malidaadi,” bw’ayogera Mukama.

Read full chapter

(A)Ne ndaba ekibuga ekitukuvu Yerusaalemi ekiggya nga kikka okuva ewa Katonda mu ggulu, nga kiri ng’omugole bw’abeera ku mbaga ey’obugole bwe, ng’ayonjereddwa bbaawe.

Read full chapter