Add parallel Print Page Options

12 (A)Ku lunaku olwo Mukama Katonda ow’Eggye
    yalangirira okukaaba n’okukuba ebiwoobe,
n’okwemwako enviiri
    n’okwambala ebibukutu.
13 (B)Naye laba, ssanyu na kujaguza,
    okubaaga ente n’okutta endiga,
    okulya ennyama n’okunywa envinnyo.
Mwogere nti, “Leka tulye, era tunywe
    kubanga enkya tunaafa.”

Read full chapter

(A)Abatuuze b’e Samaliya bali mu ntiisa
    olw’ennyana ensaanuuse ey’e Besaveni.
Abantu baayo baligikungubagira,
    ne bakabona baayo abaweereza bakatonda abalala,
abaasanyukanga olw’ekitiibwa kyayo baligikungubagira,
    kubanga ekitiibwa kyayo kigivuddeko.

Read full chapter