Add parallel Print Page Options

22 (A)Zibasanze abo abazira mu kunywa omwenge
    era mu kutabula ekitamiiza,

Read full chapter

(A)Ne bano nabo batagala olw’omwenge,
    era bawabye olw’ekitamiiza;
Bakabona ne bannabbi batagala olw’ekitamiiza,
    era bawabye olw’omwenge;
bawabye olw’ekitamiiza,
    batagala ne bava mu kwolesebwa,
    era tebasalawo nsonga.
(B)Weewaawo emmeeza zonna ziriko ebisesemye,
    tewakyali kifo kiyonjo.

Read full chapter

12 (A)Bagambagana nti,
    “Mujje, leka tukime omwenge tunywe tutamiire.
N’olw’enkya lunaku ng’olwa leero,
    oba n’okusingawo.”

Read full chapter

26 (A)“Nga bwe kyali mu biseera bya Nuuwa, era bwe kityo bwe kiriba ne mu biseera by’Omwana w’Omuntu. 27 Abantu baali balya nga banywa nga bawasa era nga bafumbirwa okutuusa ku lunaku Nuuwa lwe yayingira mu lyato. Olwo amataba ne gajja ne gasaanyaawo buli kintu.

28 (B)“Era kiriba nga bwe kyali mu nnaku za Lutti. Abantu baali balya nga banywa, nga bagula era nga batunda, nga balima era nga bazimba amayumba, 29 okutuusa ku lunaku Lutti lwe yava mu Sodomu. Olwo omuliro n’olunyata ne biyiika okuva mu ggulu ne bizikiriza buli kimu.

Read full chapter

32 (A)Kale obanga nze omuntu obuntu nalwana n’ensolo enkambwe mu Efeso, kingasa ki? Obanga abafu tebazuukizibwa,

“Kale tulye tunywe
    kubanga enkya tuli ba kufa.”

Read full chapter