Add parallel Print Page Options

14 (A)Mukama Katonda alikwatirwa Yakobo ekisa,
    addemu alonde Isirayiri
    abazze ku ttaka lyabwe.
Ne bannamawanga balibeegattako
    era babeere wamu nga babeeyungiddeko ddala.
(B)N’amawanga mangi galibayamba
    okudda mu nsi yaabwe,
n’ennyumba ya Isirayiri ebeere n’abantu
    abamawanga amangi mu nsi ya Mukama Katonda, nga baweereza baabwe abasajja n’abakazi.
Baliwamba abaali babawambye,
    bafuge abo abaabakijjanyanga.

Read full chapter

19 (A)Ayi Mukama, amaanyi gange era ekigo kyange,
    ekiddukiro kyange mu biro eby’okulabiramu ennaku,
bannaggwanga balijja gy’oli,
    okuva ku nkomerero z’ensi bagambe nti,
“Bakitaffe tebaalina kantu okuggyako bakatonda ab’obulimba,
    ebifaananyi ebikolerere ebitagasa ebitaabayamba.

Read full chapter

20 Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, “Amawanga mangi n’abantu bangi abalijja okuva mu bibuga bingi era n’okuva mu nsi nnyingi; 21 (A)era ab’ekibuga ekimu baliraga mu kibuga ekirala babagambe nti, ‘Tugende mangu twegayiririre Mukama, tunoonye amaaso ga Mukama ow’Eggye. Nze kennyini ŋŋenda.’ 22 (B)Abantu bangi n’amawanga mangi ag’amaanyi galijja okunoonya Mukama ow’Eggye mu Yerusaalemi n’okwegayirira Mukama.”

23 (C)Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, “Mu nnaku ezo abasajja kkumi okuva mu buli lulimi olwogerwa mu mawanga balyekwata ku kyambalo ky’Omuyudaaya bagambe nti, ‘Muleke tugende nammwe kubanga twawulira nga Katonda ali nammwe.’ ”

Read full chapter

25 (A)ebyama by’omu mutima gwe bibikkulwe, alyoke afukamire asinze Katonda, nga bw’agamba nti, “Ddala Katonda ali mu mmwe.”

Read full chapter