Add parallel Print Page Options

13 (A)Olisituka n’osaasira Sayuuni,
    kino kye kiseera okulaga Sayuuni omukwano;
    ekiseera kye wateekateeka kituuse.

Read full chapter

10 (A)Tebaalumwenga njala newaakubadde ennyonta,
    ebbugumu ly’omu ddungu teriibakwatenga newaakubadde omusana okubookya.
Oyo abakwatirwa ekisa alibakulembera,
    anaabatwalanga awali enzizi z’amazzi.

Read full chapter

13 (A)Yogerera waggulu n’essanyu, era jjaguza ggwe ensi.
    Muyimbe mmwe ensozi!
    Kubanga Mukama agumya abantu be era alisaasira abantu be ababonyaabonyezebwa.

Read full chapter

(A)“Nakulekako akaseera katono nnyo;
    naye ndikukuŋŋaanya n’okusaasira okungi.
(B)Obusungu obubuubuuka bwe bwankwata
    nakweka amaaso gange okumala ekiseera,
naye ndikukwatirwa ekisa n’okwagala okutaliggwaawo,”
    bw’ayogera Mukama Katonda,
    Omununuzi wo.

Read full chapter

10 (A)Kubanga ensozi ziyinza okuvaawo n’obusozi okuggyibwawo
    naye okwagala kwange okutaggwaawo tekulisagaasagana
so n’endagaano yange ey’emirembe
    teriggyibwawo,”
    bw’ayogera Mukama Katonda akusaasira.

Read full chapter

Isirayiri Yalondebwa Katonda

(A)“Naye ggwe Isirayiri omuweereza wange,
    Yakobo gwe nalonda,
    ezzadde lya Ibulayimu mukwano gwange,

Read full chapter

Isirayiri Eyalondebwa

44 (A)“Naye kaakano ggwe Yakobo omuweereza wange, wuliriza,
    ggwe Isirayiri gwe nalonda.

Read full chapter

(A)Bw’ati bw’ayogera Mukama,
    Omununuzi era Omutukuvu wa Isirayiri,
eri oyo eyanyoomebwa n’akyayibwa amawanga,
    eri omuweereza w’abafuzi nti,
“Bakabaka baliyimirira ne bakuwa ekitiibwa,
    abalangira balikulaba ne bakuvuunamira.
Kino kiribaawo ku lwa Mukama, omwesigwa Omutukuvu wa Isirayiri,
    oyo akulonze.”

Read full chapter

17 (A)“Yogera n’eddoboozi ery’omwanguka nti, Mukama Katonda ow’Eggye alangiridde nti, ‘Ebibuga byange bijja kuddamu okukulukuta obugagga, era Mukama alizzaamu Sayuuni amaanyi, ne yeeroboza Yerusaalemi.’ ”

Read full chapter

12 (A)Era Yuda aliba mugabo gwa Mukama mu nsi entukuvu, era aliddamu okwerondera Yerusaalemi.

Read full chapter

12 (A)nga mu biro biri temwamanya Kristo. Temwabalirwa mu ggwanga lya Isirayiri, era ng’Abaamawanga, temwalina mugabo mu ndagaano ya Katonda ey’ekisuubizo. Mwali wala ne Katonda, nga n’essuubi temulina. 13 (B)Naye kaakano mu Kristo Yesu, mmwe abaali ewala mwasembezebwa olw’omusaayi gwa Kristo.

14 Kristo gy’emirembe gyaffe, oyo eyatufuula ffe Abayudaaya nammwe Abaamawanga, okuba omuntu omu, ng’amenyeewo ekisenge ekya wakati eky’obulabe, ekyatwawulanga. 15 (C)Yadibya n’etteeka mu mateeka, alyoke yeetondemu omuntu omuggya ava mu babiri, ng’aleeta emirembe, 16 alyoke atabaganye ababiri okufuuka omubiri gumu eri Katonda olw’omusaalaba, bwe yazikiririza obulabe ku gwo. 17 Yajja okubuulira emirembe abo abaali ewala ne Katonda, n’abo abaali okumpi naye. 18 (D)Ku bw’oyo Kristo ffenna tuyita mu Mwoyo omu okutuuka eri Kitaffe.

19 (E)Noolwekyo temukyali baamawanga oba abagwira, wabula muli ba kika kimu n’abatukuvu, abantu ba Katonda, era muli ba mu nnyumba ya Katonda.

Read full chapter