Add parallel Print Page Options

Bannabbi Aboobulimba Basalirwa Omusango

13 Ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira ng’agamba nti, (A)“Omwana w’omuntu, yogera ebyobunnabbi eri bannabbi ba Isirayiri aboogera obunnabbi kaakano. Tegeeza abo aboogera obunnabbi bwe bayiiyizza nti, ‘Muwulire ekigambo kya Mukama. (B)Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, zibasanze bannabbi abasirusiru abagoberera omwoyo gwabwe ate nga tebalina kye balabye. Isirayiri, bannabbi bo bali ng’ebibe ebitambulatambula mu bifulukwa. (C)Temwambuse kuddaabiriza bbugwe n’okuziba ebituli ebirimu ku lw’ennyumba ya Isirayiri, esobole okuyimirira nga ngumu mu lutalo ku lunaku lwa Mukama Katonda. (D)Okwolesebwa kwabwe kukyamu, n’okubikkulirwa kwabwe kwa bulimba. Mukama ne bw’aba tabatumye boogera nti, “bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda,” ne bamusuubira okutuukiriza ebyo bye boogedde. Temulabye kwolesebwa kukyamu ne mwogera n’okubikkulirwa okw’obulimba, bwe mwogedde nti, “Mukama bw’ati bw’ayogera,” newaakubadde nga mba soogedde?

“ ‘Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, olw’ebigambo byo ebikyamu n’olw’okwolesebwa kwo okw’obulimba, ndi mulabe wo. (E)Omukono gwange gulibeera ku bannabbi abalaba okwolesebwa okukyamu era aboogera okubikkulirwa okw’obulimba. Tebalituula mu kibiina eky’abantu bange newaakubadde okuwandiikibwa ku nkalala z’ennyumba ya Isirayiri, wadde okuyingira mu nsi ya Isirayiri. Olwo olimanya nga nze Mukama Katonda.

10 (F)“ ‘Olw’okuba nga babuzaabuza abantu bange nga boogera nti, “Mirembe,” ate nga tewali mirembe, ate bwe bazimba bbugwe omunafu, ne basiigako langi okubikka bye batazimbye bulungi, 11 (G)kyonoova ogamba abo ababikkirira ne langi nti bbugwe aligwa. Enkuba eritonnya nnyo, era ndisindika omuzira, n’embuyaga ez’amaanyi zirikunta. 12 Bbugwe bw’aligwa, abantu tebalikubuuza nti, “Langi gye wasiigako eruwa?”

13 (H)“ ‘Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Mu kiruyi kyange ndisindika kibuyaga ow’amaanyi, ne mu busungu bwange ndisindika omuzira, ne mu bukambwe obungi enkuba ennyingi ennyo eritonnya okukizikiriza. 14 (I)Ndimenya bbugwe gwe mwasiiga langi musaasaanye ku ttaka, n’omusingi gwe gusigale nga gwasaamiridde. Bw’aligwa, alikugwiira n’ozikirizibwa, olyoke omanye nga nze Mukama Katonda. 15 Ndimalira ekiruyi kyange ku bbugwe ne ku abo abaakisiiga langi, nga ŋŋamba nti, “Bbugwe agenze, era abaamusiiga langi nabo balugenze, 16 (J)abo bannabbi ba Isirayiri abaayogera eby’obunnabbi eri Yerusaalemi ne balabikirwa okwolesebwa ow’emirembe gye bali, ate nga tewaaliwo mirembe, bw’ayogera Mukama Katonda.” ’

17 (K)“Kaakano omwana w’omuntu, amaaso go gateeke ku bawala b’abantu bo aboogera eby’obunnabbi bye bayiiyizza. Bawe obunnabbi, oyogere nti, 18 ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Zibasanze abakazi abatunga ebikomo eby’obulogo ku mikono gyabwe ne batunga ebyokwebikkirira ku mutwe ebiwanvu mu ngeri ez’enjawulo basobole okutega abantu. Olitega obulamu bw’abantu bange, naye ne weesigaliza obubwo? 19 (L)Onswazizza mu bantu bange olw’embatu entono eza sayiri n’olw’obukunkumuka bw’emigaati, bw’osse abantu abatateekwa kuttibwa, ate n’oleka abatateekwa kuba balamu, ng’obalimba nabo ne bawuliriza eby’obulimba.

20 “ ‘Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Ndi mulabe w’obulogo bwo, bw’okozesa okuteega abantu ng’ateega ebinyonyi, era ndibaggya mu mikono gyo. Ndinunula abantu be wateega ng’ebinyonyi n’obasiba. 21 (M)Ndiyuza ebyambalo byo ebyokwebikkirira, ne mponya abantu bange mu mikono gyo, ne bataddayo kugwa mu mutego gwa buyinza bwo, olyoke omanye nga nze Mukama Katonda. 22 (N)Kubanga wanakuwaza abatuukirivu n’obulimba bwo, ate nga nnali sibanakuwazza. Olw’okuleetera abakozi b’ebibi okweyongera mu ngeri zaabwe ezitali za butuukirivu, n’owonya obulamu bwabwe, 23 (O)ky’oliva olemwa okulaba okwolesebwa okukyamu wadde okufuna okubikkulirwa. Ndiwonya abantu bange okuva mu mikono gyo, olyokye omanye nga nze Mukama Katonda.’ ”

False Prophets Condemned

13 The word of the Lord came to me: “Son of man, prophesy against the prophets(A) of Israel who are now prophesying. Say to those who prophesy out of their own imagination:(B) ‘Hear the word of the Lord!(C) This is what the Sovereign Lord says: Woe to the foolish[a] prophets(D) who follow their own spirit and have seen nothing!(E) Your prophets, Israel, are like jackals among ruins. You have not gone up to the breaches in the wall to repair(F) it for the people of Israel so that it will stand firm in the battle on the day of the Lord.(G) Their visions are false(H) and their divinations a lie. Even though the Lord has not sent(I) them, they say, “The Lord declares,” and expect him to fulfill their words.(J) Have you not seen false visions(K) and uttered lying divinations when you say, “The Lord declares,” though I have not spoken?

“‘Therefore this is what the Sovereign Lord says: Because of your false words and lying visions, I am against you,(L) declares the Sovereign Lord. My hand will be against the prophets who see false visions and utter lying(M) divinations. They will not belong to the council of my people or be listed in the records(N) of Israel, nor will they enter the land of Israel. Then you will know that I am the Sovereign Lord.(O)

10 “‘Because they lead my people astray,(P) saying, “Peace,”(Q) when there is no peace, and because, when a flimsy wall is built, they cover it with whitewash,(R) 11 therefore tell those who cover it with whitewash that it is going to fall. Rain will come in torrents, and I will send hailstones(S) hurtling down,(T) and violent winds will burst forth.(U) 12 When the wall collapses, will people not ask you, “Where is the whitewash you covered it with?”

13 “‘Therefore this is what the Sovereign Lord says: In my wrath I will unleash a violent wind, and in my anger hailstones(V) and torrents of rain(W) will fall with destructive fury.(X) 14 I will tear down the wall(Y) you have covered with whitewash and will level it to the ground so that its foundation(Z) will be laid bare. When it[b] falls,(AA) you will be destroyed in it; and you will know that I am the Lord. 15 So I will pour out my wrath against the wall and against those who covered it with whitewash. I will say to you, “The wall is gone and so are those who whitewashed it, 16 those prophets of Israel who prophesied to Jerusalem and saw visions of peace for her when there was no peace, declares the Sovereign Lord.(AB)”’

17 “Now, son of man, set your face(AC) against the daughters(AD) of your people who prophesy out of their own imagination. Prophesy against them(AE) 18 and say, ‘This is what the Sovereign Lord says: Woe to the women who sew magic charms on all their wrists and make veils of various lengths for their heads in order to ensnare people. Will you ensnare the lives of my people but preserve your own? 19 You have profaned(AF) me among my people for a few handfuls of barley and scraps of bread.(AG) By lying to my people, who listen to lies, you have killed those who should not have died and have spared those who should not live.(AH)

20 “‘Therefore this is what the Sovereign Lord says: I am against your magic charms with which you ensnare people like birds and I will tear them from your arms; I will set free the people that you ensnare like birds.(AI) 21 I will tear off your veils and save my people from your hands, and they will no longer fall prey to your power. Then you will know that I am the Lord.(AJ) 22 Because you disheartened the righteous with your lies,(AK) when I had brought them no grief, and because you encouraged the wicked not to turn from their evil ways and so save their lives,(AL) 23 therefore you will no longer see false visions(AM) or practice divination.(AN) I will save(AO) my people from your hands. And then you will know that I am the Lord.(AP)’”

Footnotes

  1. Ezekiel 13:3 Or wicked
  2. Ezekiel 13:14 Or the city